Empeke empeweevu ziba ngonvu era ebiwuka bizonoona mangu awamu n’obutwa obuleetebwa obukuku .Okwanika n’okutereka obulungi kwamugaso nnyo mukubyewala.
Empeke zo zikaze ng’ozisa ku kintu ekya plasitika nga tonazitereka kubanga wozaanika ku ttaka ziba n’emikisa mingi egy’okwonooneka .Engeri endala ey’okwewala ebuwuka n’okulumbibwa obukuku kwe kutereka emmere yo ey’empeke ng’okozesa pawuda atta obuwuka akolebwa mu bintu eby’obutonde ayitibwa ‘Diamaceous earth’ ono omukozesa ng’omazze okuzikaza.Pawuda ono afuula empeke okuba engumu era azikaza n’okutta obuwuka obuyiza okulumba empeke ,pawuda ono agyako olububi olusooka ku buwuka ekibuleetera okufiirwa amazzi era nebuffa.
Entabula ennungi
Wetaaga pawuda wa diatomaceous earth nga ali ku kipimo kya 0.5 kilo mu buli kilo 90 ez’empeke.Okugatta pawuda ono mu mpeke ,sooka oyiwe empeke zo ku kintu ekya plasitiika mu ntumu olyoke omansireko ekipimo kya 1/3 ekyakasaketi ka pawuda era otabulemu amazzi agatukula ng’okozesa ekitabula ekitukula.
Pawuda wa diatomaceous awangaala emyezi 6 ekitono ennyo okusinga eddagala lyebasa ku mpeke eddala erikolebwa mu makolero,empeke eziteereddwako pawuda wa diatomeceous zisobola okuliibwa notafuna buzibu newoba wakamuteeka ko era empeke weziba zetaagibwa okozesebwa,zitwalibwa ku kyuma ekikuba akawunga ne zisooka okusengejjebwa okusobola okugyamu ebisasiro nga tezinakubwa.
Okukozesa Pawuda wa diatomeceous earth mu kutereka emmere y’empeke nkola etali yabuseere wogigeregannya n’eddagala okuli okozesa eddagala erikoleddwa mu makolero ,n’okusanikirirawo obukutiya obulimu empeke.