Ebbeeyi y’emere erinnya buli olukedde era bwoba endiisa togifudeko bulungi, abalunzi bafirwa era nga kiyinza okubavirako okubivako ebyokulunda ebyenyanja olw’obungi bwa sente obutekebwamu okubirunda nga kiva ku beeyi ya mere okuba waggulu. Okusobola embeera eno, abalunzi abamu batandika okwekolera emere eyabwe.
Ebiva mu kuliisa emere eyitiride obungi
Okuyitiriza emere kugiretera okwononebwa nga ebyenyanja bwebimala okulya emere esigalawo etengejja ku ngulu ku mazzi mu kidiba kubanga ebyenyanja biba byakuse dda.
Efikira netengejja eretera okwongera ku sente ezitekebwamu omulunzi nga ekitundu ekinene ku mbalirira kisasanira ku kuliisa wadde nga emu eyononeka bwononesi. Kino kivirako omulunzi okufirwa.
Okuyitiriza emere kikyafuwaza ekidiba nga emere esigalira enywa amazzi , nebbira mu mazzi era negakyafuwaza. Emere enyikira mu mazzi eretera amazzi okuzitowa, nekikendeeza obungi bw’omuka ogusibwa (Oxygen) ali mu mazzi ekivirako ebyenyanja okuziyira.
Bwolaba nga ebyenyanja obiwadde emere nyinji, osobola okuyolako ebera esigalidde nogikozesa omulundi ogudako.