Lwaki tusalira emiti gya ovacado

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=CwX28PKCBX0

Ebbanga: 

00:03:36

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Kakuzi Avocademy
Emigaso gy'okusalira emitti gya ovacado

Okusalira kwe kujjako enduli oba amatabi agakuze ku kimera ng’ottema ng’eno y’engeri y’okuza omutti gwa ovacado obujja.

Okusalira kwa mugaso nnyo kubanga kuyamba omuti okudamu okukula ,era kuyamba okuziyiza omutti okuwanvuwa ennyo kubanga weguwanvuwa ennyo,ebibala bisobola okukosebwa mu kiseera eky’okukungula ate era kuzibuwaza okuziyiza ebitonde ebyonoona ebirime n’obulwadde.
Emigaso emirala
Obulungi bw’okusalira bulabikira wo ku makungula n’omutindo.Kwongera ku makungula kubanga kuyamba ku kwoleka omuti eri ekitangaala ekiva ku musana ate era omutti gwa ovacado gumulisa bulungi n’okubazza ebibala singa ekitangaala ekiva ku musana kiba kigutuukako bulungi.
Omutindo gw’ebibala gulongosebwa olw’okuba nti ekirime kiba kisobola okufuna ekitangaala n’entambula y’empewo ennungi kino kikendeza ku ndwadde ezonooza ebirime.(fungal diseases)
Wommala okusalira,ebisigalira biba bingi era binno osobola okubikozesa okubika ettaka mu nnimiro.Binno bivvunda era nebivaamu ebiriisa ebiteekebwa mu ttaka.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:24Okusalira kwe kugyako enduli ezzikuze ennyo oba amatabi okuvva ku mutti
00:2501:01Ebirungi ebiri mu kusalira omutti gwa ovacado
01:0201:35Emigaso gy'okusalira girabikira wo mu makungula n'omutindo gw'ekibala
01:3602:30Ebikka by'okusalira biri bisattu
02:3103:15Amatabi agatemeddwa gasobola okukozesebwa mu kubika ettaka
03:1603:36Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *