Okubikka enyaanya kikolwa ky’amaanyi ku lwensonga eziwera. Kiyamba okukuuma amazzi wamu nokukuuma ekimera wamu nokwewala omuddo mu musiri.
Okubikka enyaanya
Sasanya ebisubi nga bya inch 2 ku 4 okwetolola ekikolo kye nyaanya. Sika ebisubi inch 1 ku 2 okuva ku muti okole engeri ya kanya okwetolola ekikolo. Kino kiyamba obutakatira ttaka okwetolola omuti ekiyinza okuguvirako okuvunda omuti.
Akanya kano katekawo embeera ekwata amazzi agayamba ekimera. Bwoba olina ebisubi bingi biteeke mu nkuubo wakati w’enyaanya okukuuma omuddo nga tegumera. Kakasa nti ofukirira ebimera.
Okubikka enyaanya kisaana kukolebwa mangu ddala nga zakasimbibwa okufuna ekisinga.