Okola nakavvundira okuva mu nsekeseke z‘omuceere ngeri nnungi mu kufuna sente ez‘ennyongereza n‘okukuuma ettaka nga ddamu. n‘olwekyo osobola okugoberera emitendera ginno.
Ensekeseke z‘omuceere zisobola ookozesebwa mu ngeri ez‘enjawulo. N‘okusingira ddala abalimi baziraba ng‘ebisigalira kubanga tebivundira ddala bulungi, byalayisi mu kutunda era bingi ddala. Nolw‘ekyo , abalimi bayokya enseke z‘omuceere okusobola okufuna ebbanga ery‘okulima mu sizoni eddako. kinno kibi eri empewo era kita obulamu mu ttaka.
Obuwuka Obusirikittu.
Okukola nakavundira okuva mu nsekeseke z‘omuceere wetaaga obuwuka obusirikittu obulina okuba nga bwa kipimo ekigere mu bigimusa, ensekeseke z‘omuceere , empewo ey‘omuttaka , n‘empewo eva mu bbanga.
Entuumu eziri wansi wa mita emu waggulu tezetaaga bugumu limala naye era mu kiseera ky‘ekimu entumo eri waggulu ennyo eba ezitowa nnyo . Ewatali ntambula y‘empewo omutendera gw‘okuvunza gusooba. Ebbugumu erisuka ekipimo kya attaano mu ttaano ne nkaaga mu ttaano litta ensigo z‘ebimera ebitayagalibwa n‘obulwadde obuli mu bigimusa. Entuumu singa etuuka ku kipimo kye nsaanvu mw‘ekimu ebbugumu liba lingi nnyo era obuwuka bwona obw‘omugaso obukozesebwa mu kuvunza buffa.
Okuvunza ensekeseke z‘omuceere.
Gatta ensekeseke z‘omuceere mu nakavundira eyakakolebwa mu kipimo kya 2 ku 1 . Zimbawo entuumu ng‘otanbikatabika ensekeseke z‘omuceere n‘entuumu ya nakavundira.Mukwongerezaako, olina okwongeramu amazzi mu buli ntuumo . Entuumu erina okuba nga mpewevu naye nga tetobye nnyo . Entuumu erina okuba nga mpanvu ng‘omuntu omukulu.Furthermore you should add water to each layer.
Mu nakku mukaaga ezisooka nakavundira aba ayokya nnyo okukwatwako. Ebbugumu weriba lisinga ekipimo ky‘ensaanvu mw‘emu ,lilina okyusibwa , lisobole okwuwola. Ngawayiseewo wiiki emu ebbugumu lika paka ku kipimo kya abiri . Awo entuumu eba ebuguma wogikwataako.
Olina okukyusa entuumu buli luvannyuma lwa wiiki ssattu ku nnya era okozese obusobizi bunno okwongera mu amazzi agenkana.Okusobola okwanguya omutendera gunno osobola okugula obuwuka obusilikitu obunakola.
Nakavundira alina okuba nga atuuse okozeseebwa nga wayiseewo emyezi enna. Oja kukizuula nti ensekeseke z‘omuceere tezikyafaana nga wezabadde , naye zilabika,ziwulirwa ,era ziwunnya nga ettaka eppya.
Wekenennye nakavundira wo nga tonamutunda osobole okwongera ku muwendo gwabyo.