Abantu bangi abali mu mulimu gw’okulima emiti era nga gino bagigula okuva mu mmerezo yaajo.
Bwoba ogula omuti okuva mu mmerezo, Waliwo ensonga ezirina okuteebwako essira nga tonaba kugula ndokwa. Olina okumanya omugaso gw’omuti ogwo okugeza ensonga lwaki ogula omuti ogwo, engeri gy’ekulamu, ekikula kyagwo n’embeera z’ekifo we gugenda okulira.
EBIRINA OKUTEEKEBWAKO ESSIRA NGA OGULA OMUTI
Mu kumanya omugaso gw’omuti, olina okulowooza ku kika ky’omuti ekisigala nga kya kiragala mu budde bw’enkuba naye atenga mu budde bwa kasana gugwako ebikoola byonna kisobole okuziyiza kukukendeera kwa mazzi.
Osobola era okulonda omuti ogusigala nga gwa kiragala ekiseera kyonna, Kino kiyamba okukendeeza embuyaga n’okutangira saako n’okukuwa eddembe. Osobola era okulonda omuti nga egitera okusimbibwa ku makubo gusobole okulabisa obulungi awaka wo.
Endabika n’ekikula ky’omuti birina okuteekebwako essira. Kino kiyamba okukakasa nti ekika ky’omuti ekituufu kisimbibwa mu kifo ekituufu okugeza emiti emiwanvu gisobola okusimbwa okulinaana amaka gisobole okutangira embuyaga.
Ensonga endala ezirina okuteekebwa mu nkola mulimu; ekika ky’ettaka, okuyolesebwa kwagwo eri omusana n’embuyaga, okunyikira kw’amazzi ,obuzibu bw’okulekamu amabanga, oba omuti gusobola okukulira mu kifo ekyo , emirimu egikolebwa, ebiwuka n’emiti egikwatibwa amangu endwadde n’okulaba nti oba girinaanye emiti gya masanyalaze.
OKUGULA EMITI EGISIMBIDDWA MU MIKEBE
Bwoba ogula omuti ogukulidde mu mukebe, weetegereze nnyo emirandira. Emirandira girina okubeera n’obulandira obutono obuva erudda n’erudda ku nduli y’omuti,emirandira egirina ekikula ekirungi ate ne langi ennungi.Ebyo byonna birina okwekebejjebwa nga ogula emiti emipya.