»Obubagulizo mu kukuza obukoko obw‘olunaku olumu«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=D3MynqafKKA

Ebbanga: 

00:06:14

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AIM Agriculture
»«

Mu kulunda enkoko okw‘okukolamu ssente, okufa kw‘obukoko obuto mu bungi kubeerawo nnyo nga bukyali buto. Wabula, kino kikendeezebwa na kukozesa bukodyo oba obukugu obwetaagisa mu kulunda kuno.

Mu kkulizo, obukoko buteekebwamu nga byonna ebyetaagisa okugeza ebibookisi mwe buleeterwa, ebinywero, ensuwa oba essigiri ezireeta ebbugumu, ebiriiro n‘ebirala biteereddwawo mu bujjuvu ku lw‘endabirira ennungi okusobola okukuza oba okufulumya obukoko obungi ate obuli ku mutindo.

Ebyetaagisa mu kukuza obukoko.

Ekkulizo lirina okubeera eryeetooloovu oba mu nkula ey‘eggi nga temuli busonda. Mu kino, kozesa ebibookisi mu kkulizo mu nnaku omusanvu ezisooka era otandiikirize mpola okuleeta obubaawo okwewala obukoko okulumaaluma obubaawo obwo.

Mu ngeri yeemu, enkoko ziriise eby‘okulya ebirimu vvitamiini ez‘enjawulo wamu n‘eddagala eritta obuwuka mu mubiri mu nnaku ssatu ezisooka okuwonya obukundi wamu n‘okutangira okukabirirwa (stress). Kakasa nga mulimu ebinywero ebimala mu bungi bwa kinywero kimu ku buli bukoko ataano n‘ebiriiro by‘obukoko obuto mu bungi bwa kiriiro kimu ku buli bukoko abiri mu butaano. .

Okwongerezaako mu nnaku ssatu ezisooka, obukoko buwe amazzi wamu n‘emmere obukoko gye butandikirako. Gattamu amafuta g‘ettaala amatono bunywe okutangira ebizibu by‘emmere obutamenyebwamenyebwa mu lubuto era oluvannyuma lw‘ennaku ssatu, obukoko buwe vvitamiini ez‘enjawulo okumala ennaku musanvu oluvannyuma obugeme ssotoka.

Teekamu ekitangaala ekimala so si ekyaka ennyo okuziyiza obukoko okulya bunnaabwo oba okulumagana. Ekitangaala kiteekwa okubaawo emisana n‘ekiro okumala wiiki ssatu era mu kkulizo oteekemu ebbugumu erimala eryetaagisa. Weetegereze obukoko mu kiyumba okugera obulungi ebbugumu erisaanidde era okakase nti ebbugumu likuumibwa mu kigero kyekimu.

Ekisembayo, laba nga obukoko busobola okwewa amabanga agamala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:18Ekkulizo lirina okubeera eryetooloovu oba ery‘enkula ey‘eggi era nga teririimu busonda.
00:1901:14Kozesa ebibookisi mu nnaku omusanvu ezisooka era oleete mpola mpola obubaawo.
01:1501:59Liisa obukoko vvitamiini ez‘enjawulo wanu n‘eddagala eritta obuwuka mu mubiri okumala ennaku ssatu ezisooka.
02:0002:22Kakasa nti mulimu ebinywero enimala.
02:2303:46Mu nnaku ssatu ezisooka, obukoko buwe amazzi wamu n‘emmere obukoko gye butandikirako.
03:4704:01Oluvannyuma lw‘ennaku ssatu, obukoko buwe vvitamiini ow‘ebika eby‘enjawulo era obugeme ssotoka.
04:0204:45Teekamu ekitangaala ekimala okutangira obukoko okulya oba okuluma bunnaabwo.
04:4605:10Teeka ebbugumu erimala mu kkulizo.
05:1105:51Weetegereze obukoko okupima obulungi ebbugumu.
05:5205:59Kakasa nti obukoko busobola okwewa amabanga agamala.
06:0006:14Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *