Abalunzi bangi basanga obuzibu mu ku kwata enjuki olwobutaba n’abukuguku ngeri gyekikolebwamu.
Bwoba okwata enjuki, kozesa emitego emituufu okutega emiziinga okugeza emitego egisinga okukwasa giberamu liita 35 ku 60, girana okuba nga enkuba teyingira wadde omusanaera nga omulyango guli obugazi bwa sq inch 1.5 ku 2. Kozesa emitego gye’njuki eziri mu bibinja egirina emyango kubanga kino kyanguya bwoba ozikyuusa okuva mwozitegede okudda mu muzinga omulala.
Obukodyo obulala
Kozesa ebintu by’enjukli ebikadde ebirina akawoowo kenjuki kubanga enjuki zagala akawoowo k’enjuki endala.
Ekifo woteeeka omutego kikulu kwegamba teeka omutego awali ebintu enjuki byezinoonya okugeza amazzi, enimiro oba n’emumizinga emirala.
Kakasa nti omutego gw’enjuki gutukikako mangu enjuki. Tokweka mutego mu busaka obukwafu enjuki gyezitatuuka.
Omutego gwo guwanike ku muti omugumu wabula ssi ku muti ogunyenyebwa empewo.
Kakasa nti emitego gyo ginywedde ku tabi ly’omuti.
Bwoba osobola, omutego gwo gutunuze mu maserengeta oba ebugwanjuba awo ofunemu mangu.
Sikiriza ekibinja kyo eky’enjuki nha okozesa ekisubi oba ebisikiriza ebirala.
Bwoba olina akafo awatera okubeeramu enjuki, olwo emitego gyo giteeke awo kubanga obuwanguzi buleeta buwanguzi.