Okusobola okubeera omulunzi wa semutundu ow’amaanyi, wetaaga okusalawo ekika kya semutundu kye wetaaga okulunda kubanga waliyo ebika ebyenjawulo nga mulimu African Catfish ne semutundu endala. Semutundu ez’enjawulo zikulira ku misinde gya njawulo, waliwo ezikula amangu wamu n’ezo ezikula empola nolwekyo wetaaga okusalawo ku kika kya semutundu kyewtaaga okulunda okuva mu ntandikwa.
Byolina okutunulira ebirala
Ebintu ebirala byolina okutunulira kye kifo woteeka faamu yo kubanga semutundu yetaaga amazzi agabuguma okweyagala obulungi nolwekyo faamu yo erina okubeera mu kifo nga ebbugumu ly’amazzi litambulira mu diguli 70F.
Wetaaga ensulo y’amazzi etakalira okugeza nga omugga oba enyanja kubanaga semutundu okuzirunda wetaaga amazzi mangi.
Tekawo embeera eyeyagaza eri semutundu zo nga okakasa nti ekidiba kyo kirina omukka gwa Oxygen ogumala era n’emere yensonga lwaki nga tonareeta semutundu zo mu kidiba, wetaaga okukakasa nti okitegese bulungi era mulimu ebigimusa. Embeera bwetaaba nungi, ojja kulaba nga ebyenyanja byo bifa nnyo.
Kumira eriiso ku byenyanja byo. Kakasa nti olambula ebyenyanja byo oluberera okulaba nti bisanyufu era biramu. Wekenye okulaba obubonero bw’obulwadde wamu nokwetegereza omutindo gw’amazzi.