Enkungula entuufu ey’ebinazi omukolebwa butto kikolwa ky’amugaso eri obulimi bw’ebinazi era nga kyongera amagoba ku faamu.
Mukweyongerayo, okuyita mukukungula okutuufu buli kiseera kyongera kumakungula wamu n’amagoba mangi n’olweekyo mukiseera nga amakungula mangi kungula buli luvanyuma lwannaku 10 ne nnaku 14 mukiseera nga amakungula matono. Mukukungula bulijjo kakasa nti okungula ebyo byokka ebinazi ebitukana n’omutindo gw’amakolero okusobola okukenenula butto yena era nga wamutindo.
Enkula
Ebiseera ebisinga, buli kinazi kimulisa byombi ekimuli ekisajja nekikazi, ekisajja kifulumya enkwaaso okukwaasa ekimuli ekikazi, bino bivaamu ebibala oluvanyuma lw’okukwaasa ekimuli. Mubutuufu, enkuba, omusana, ensigo ennungi wamu n’enima ennnungi bireetera ebinazi okukula obulungi.
Enkungula ennungi
Tandika nga otondawo engeri enyangu oy’okutuuka ku nimiro y’ebinazi nga ouyita mukuzimba amakubo okwanguya entambula. Okugattako, kakasa ntu emiti gisalidwa bulungi okusobola okulaba amangu amatabi agatuuse okukungulwa wamu n’okukozesa ebikola ebituufu mukukungula okusobola okwanguya wamu n’okukendeeza kunsaasaanya. Mukw’eyongerayo, kozesa wilubaalo okutambuza ebibala ebikungudwa era okungaanye ebibala ebyo byonna ebikoonose era nekisembayo, kungulira kuludda olutuufu okutangira ebisansa obutakuba bikozesebwa mukukungula.
Ebikolebwa oluvanyuma lw’okukungula
Tandika nga ebisansa obitemamu ebitundu bibiri era nga obyetolooza omuti mungeri ya bokisi, n’oluvanyuma kungaanya ebibala byonna ebikunkumuse kubanga bino bibeeramu butto mungi n’okusinga ebirimba. Ekisembayo, wandiika ebinazi ebivude mumakunkula nga tonaba kugenda mukatale okuyamba abalimu okugoberera amakungula.
Ebikozesebwa mukukungula
Abakozi balina okwambala eby’okwekuuma. Ebimu kubikozesebwa mukukungula mulimu, akabazi akakungula akayina obugazi bwa 10cm ku ludda wekasalira, najolo, omutayimba, ejinja eriwagala, wilubalo, ebisabika engalo, gambutusi wamu ne erementi okusobola okukendeeza kubuvune okuva kubirimba ebigwa wamu n’ebisansa ebiriko amaggwa.