Emiyembe mu Kenya girimibwa nga bakozesa ensigo ez‘enjawulo n‘okufukirira nga beyambisa amazzi agava mu mugga.Era girina ekiseera mwegirimibwa.
Ebikka by‘emiyembe egirimibwa mulimu oguyitibwa Apple mango gunno kyenkana mwetoloovu,guba munnene ate nga gwa kyenvu;Omulala guyitibwa Tommy mango gunno guba gwefaananyiriza eggi ,nga mumyufu,ate nga munnene nnyo,Waliwo oguyitibwa Kent gunno guba munnene ate nga gwa kiraagala waabula guba guwooma nnyo nga gwengedde era gutwala akabanga kawanvu okula.
Omulala oguyitibwa sensation mango buba muddugaavu era gwagalwa nnyo ebiwuka,ate oguyitibwa dyke mango ogusinga okuwooma n‘okuba ogw‘ebbeeyi.Wabula ogusinga okuliimibwa gwebaayita apple mango nogwo oguba omuwanvu oguyitibwa nyowe erinnya ery‘ekinnansi mu Kenya.
Omutendera gw‘okugatta emiyembe.
Enkola y‘okugatta emiyembe egy‘enjawulo eyamba abalimi okulima ebirime ebiramu obuluungi n‘okujjawo obuzibu obumannyiddwa ku kirime ekimu n‘olwekyo enkola enno eyongeza ku makungula g‘omulimi.Ensigo wemmera okutuuka nga ku fuuti emu,ako ke kaseera akatuufu ak‘okugatta ko ekika ekirala kyoyagala.
Womaliriza okugigatta,osobola okutandikirawo okufuna emiyembe naye sikirungi kuba endduli eba ekyali naffu n‘olwekyo amaaso gaggibwamu okutuusa weguguma kino kiyinza okutwala emyaka essattu okusobola okufuna emiyembe emirungi.
Engeri y‘okwetangira mu obuwuka obwonoona emiyembe
Obuwuka obwonoona emiyembe n‘obulwadde; Emiyembe gitawannyizibwa nnyo obuwuka obuleeta endwadde obuyitibwa fungal pathogen, buno buleeta obulwadde obwa powdery mild dew obukwata ennyo ekibala ky‘omuyembe nga ki kyali kitto ,ebimuli n‘ebikooola ,obuwuka bunno buleka ko powuda omweru n‘oluusi buleka nga emiyembe gimezeeko ebipaapi n‘olwekyo okufuuyirako eddagaala ku bitundu ebikoseddwa kiyamba okujjanjaaba omuyembe ogwo. Butto w‘ekibala ekiyitibwa Neem asobola okozesebwa mu kwewala obulwadde bunno.
Obuswera obubeera mu miyembe bunno butibwa namutego ,nga beyambisa amazzi agasikiliza obuswera obukazzi, n‘omutego omulala omugumu ogusikiriza obuswera obusajja .Wabula ebikoola webireeta langi ey‘obutalavu okozesa eddagala erifuuyirwa eritta obuwuka okusobola okubutta.
Byolina okufaako.
Funna ettaka ery‘olusennyusennyu ate nga ggimu mu nkula ,lirina okuba nga lisobola okutereka amazzi obulungi n‘ekipimo ky‘olunnyo kya 6-7. Emiyembe gisiimbe mu biseera by‘enkuba oba mu bunnyogovu ne mubiseera eby‘ekyeeya .Emiyembe gitwala emyezi enna kw‘ettaano okukula.Wabuula ekitangaala ekimala kya mugaso nnyo mu ku kula kwagyo awamu n‘okutema amatabi.