Abalimi abasinga ab‘ebimuli, enva endiirwa n‘ebibala bettanidde ennima eyoomubiyumba anti okulimira mu biyumba kwanguyiza okutangira ebyandiyingidde mu kitumba. Ng‘omulimi, osaana okutegeera obulungi buli kimu okusobola okubeera n‘ekintu ky‘otaddemu ssente ne kiyitimuka.
Ekirungi ky‘okulimira enva endiirwa mu biyumba kiri nti kyangu kya kufuga bbugumu n‘obunnyogovu awamu n‘embeera y‘obudde. Endwadde n‘ebitonde ebyonoona ebirime byangu bya kutangira. Ennyaanya yeetaaga ekigero ky‘ebbugumu eky‘enjawulo okusinziira ku bukulu bwayo, noolwekyo osobola okukyusa obungi bw‘ebbugumu eryo mu kiyumba awamu n‘okutangira ebitonde ebyonoona ebirime era n‘endwadde.
Ebika by‘ennyaanya
Waliwo ebika bibiri eby‘ennyaanya ezirimwa mu biyumba: ekika kya determinate n‘ekya undeterminate. Determinate ze ennyaanya ezimulisa omulundi ogumu era bw‘omala okuzinoga teziddamu kubala. Ekika ekya undeterminate zeezo ezimulisa emirundi n‘emirundi era zisobola okunogebwa okumala ekiseera ekiwanvuko.
Abalimi bakubirizibwa okufuna ekika ekituufu ekisaanira okulimwa mu biyumba okukekkereza ssente n‘obudde. Yawula ekika ky‘ennyaanya ekirimwa mu nnimiro eza bulijjo n‘ekyo ekirimwa mu biyumba.
Okutangira ebitonde ebyonoona ebirime
Ebitonde ebyonoona ebirime bikwatibwa na butego. Ekirumba kirongoosebwa na kufuuyira ddagala eritta ebiwuka. Okumeza endokwa kulina kubeera mu bisuwa ebineneko ebirime bireme kuvuganya olw‘ebiriisa.
Waliwo ekiyitibwa cockpit ekikozesebwa okukakasa nti ebiriisa byenkanyankanyiziddwa. Kirongoosebwa n‘ekirungo kya calcium nitrate ne kiteekebwa mu kisuwa. Ensigo zisigibwa okukka mu buwanvu bwa ssentimmita emu oba bbiri okumeruka amangu. Okumeruka kubeerawo wakati w‘ennaku musanvu n‘ekkumi oluvannyuma lw‘okusiga era ziteekebwamu ebigimusa eby‘amazzi.
Okusimbuliza
Nga tonnasimbuliza, fuuyira ekiyumba n‘eddagala eritta obuwuka okukakasa nti mu kiyumba temuli ndwadde na bitonde ebyonoona ebirime. Ebirime bifukirirwa era ne biweebwa ekigimusa mu kweyambisa empiira.
Amabanga ga bugazi bwa ssentimmita ana ku nkaaga galekebwa mu bimera mu ngeri eteri ya lunyiriri okubeera n‘amabanga agamala. Ebigimusa eby‘amazzi ebitabuddwa bikozesebwa okuwa ebirime ebiriisa. Empewo entonotono nga ya kipimo kya bitundu bibiri n‘obutundu butaano y‘eteekebwamu nga ebimera bikyali bito era eyongerwa mpolampola nga ebirime bwe bikula.