»Obulimi bw‘essunsa (ensujju)«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=S-Feg1BbbGQ

Ebbanga: 

00:03:14

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

royaldreamtv
»«

Essunsa zezimu ku nva endirwa ezisinga okulibwa era nga lifumbibwa ku nva ez‘enjawulo. Lyangu okulima n‘okulabirira engeri gyelikulira mu ttaka elyenjawulo ate nga liyayanirwa nnyo.

Ekimera kino kosebwa ebotonde ebyenjawulo nga amayanzi, beetles, bugs wamu n‘endwadde nga white leaf spot ne mosaic. Ekimera kino kimerera mu wiiki 2era kikulira mu mwezi 1, oyinza okulinoga ku wiiki 2 engeri gyerikula amngu.

Enkuza yalyo

Tandika nga ofuna awali ettaka eryolunnyo (pH) olwekigero nga watuuka omusana ogumala okusobola okukula obulungi., olwo otekemu ekigimusa ekyobutonde wiiki 2 nga tonasimba era NPK 15:15:15 nga wayise omwezi 1 nga ensigo zimeze.

Ensigo bwoba ogigye mu biryo ebiba mu nsujju, byooze era obikazze okumala enaku 7 okukendeeza oluzzi olubaamu nokusobal okumera amagu.

Era bwoba osimba, ensigo zisimbe nga awasongovu watunudde mu ttaka era ofukirire buli lunaku okumala wiiki 2 okuziyamba okumera, okwongerako koola buli luvanyuma lwa wiiki 2 okukendeeza omuddo ogulwanira amazzi n‘ebirungo.

Okwongerako, nga zimaze okumera, simba oluti oluwanvu 1-2m okumpi nebikolo okuzirandizaako, okuliyamba okukula amagu wamu nokukendeeza ku bulwadde.

Mukusembayo, ebimera bisalire oba ogyeko ebikoola 8-10 nga ova waggulu ku wiiki 3 nga limaze okumera okwongera ku makungula era okulinoga kutandikibwa wayise omwezi 1 oba 2.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:24Essunsa zezimu ku nva endirwa ezisinga okulibwa nga lifumbirwa ku mere eyenjawulo.
00:2500:32Zikulira mu ttaka elyenjawulo ate nga liyayanirwa nnyo
00:3300:43Londa ettaka eryolunnyo (pH) olwekigero nga watuuka omusana ogumala.
00:4400:59Wiiki 2 nga tonasimba tekamu ekigimusa eky‘obutonde wamu ne NPK 15:15:15 ku mwezi gumu 1 nga ensigo zimeze.
01:0001:17Yoza ensigo bwoba ozigye mu nsujju era ozikalize enaku 7.
01:1801:29Ensigo zisimbe ekigere kimu okuva kundala obuwanvu bwa 15-25cm okukka wansi. Zisimbe buwanvuyirivu nga awasongovu wewatunudde mu ttaka.
01:3001:41Fukirira ensigo buli lunaku okumala wiiki 2 era okoole buli luvanyuma lwa wiiki 2.
01:4202:02Lwanyisa ebitonde ebikosa ebimera n‘endwadde ez‘amaanyi.
02:0302:24Nga zimaze okumera simba omuti ogw‘obuwanvu bwa 1-2cm okumpi n‘ebikolo.
02:2502:52Salira oba otemeko ebikoola 8-10 nga ova waggulu ku wiiki 3 nga bimaze okumera, kungulira ku mwez1 ku 2.
02:5303:14Okusiima.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *