Kuky‘okubeera bisinensi y‘obulimi ezza amagoba, obulunzi bwa ssekkoko bukyaali wansi. Obungi n‘omutindo gwa ssekkoko ezirundiddwa gusalibwaawo ekikula wamu n‘ekika kya tekinilogiya ekikozeseddwa mubulunzi.
Obulunzi bwa ssekkoko bukolebwa olw‘okwagala era nekigendererwa nga ebikka ebisinga mulimu ebinene, eby‘ekigero era n‘ebitono ate era nga olulyo lw‘ekika ekinene lugazi, omuli breasted bronze ne broad breasted white. Ssekkoko z‘agala nnyo okulya ebimera era ensajja zizitowa kilo 8-10 ate enkazi zizitowa kilo 6-7 mu myeezi 8 kundabirira ennungi.
Endabirira ya ssekkoko
Nga bwekiri ekirungi okutangira enddwadde mu ssekkoko, ekiyumba kya ssekkoko z‘enyama ekyangu kya buwanvu bwa fuuti 12 wakati n‘obutimba obunene mu madirisa ku njuyi zombi bikozwa. Okutambuza kwempewo obulungi kiyamba okutangira eddwadde z‘amawugwe era n‘ettaka liyamba okutangira oluzizi.
Eky‘okubiri obukuta buyina okubeera nga bugulumidde yinkyi 6. Nga ebiriiro wamu n‘ebinyweero by‘amazzi bikozesebwa, ssekkoko ezikuze obulungi z‘etaaga ebanga lya fuuti 3-4 mu nyumba era mukino, ssekkoko zikula okutuuka okuzaala ku wiiki 30 ez‘obukulu. Okulinyira kukkirizibwa era obungi bwensajja nga ozigerageranya ku nkazi buli 1:5. Buli nkazi ebiika amagi 80-90 buli mwaka era buli gi lizitowa gulamuzi 80 era teziyina kiseera kituufu mwe zibiikira. Kungaanya amagi mubanga lya saawa kubanga ebinyonyi biyinza okugoonooona. Ssekkoko zibiikira wiiki 24.
Endabirira y‘amagi
Tereka amagi mukifo ekiweweevu okumala ennaku 2-3 oba mu firiigi okumala wiiki. Kozesa ekyuuma eky‘aluza mukw‘aluza bu ssekkoko obungi. Amagi okw‘alula kitwaala ennaku 28 era nga z‘alula 65-70%. Bu ssekkoko obw‘olunaku olumu buzitowa gulamuzi 50 era okukula kitwaala wikisi 4 ku 6 era mukino, teekawo ebbugumu lya 95 degrees fahreinheit muntandikwa era rikendeeze okutuusa ku deguliizi 5 fahreinheit buli wiiki okumala wiiki 4.
Endiisa ya ssekkoko.
Emyeezi 2 egisooka gy‘amugaso kubanga okufa mu bu ssekkoko kuli 6-10% era ekireeta obw‘etaavu bw‘okuliisa ebinyonyi. Teeka ebisusunku by‘omuceere wansi era obiwewe omulundi gumu mubuli nakku 2 okw‘ewala okufuumuuka era bikka amadirisa mubifo ebirimu empewo enyingi nekulunnaku lwempewo. Yongeza ku mabanga mu nyumba okusinziira kunkula ya ssekkoko era tegeka ebiriiso n‘ebinyeero. Liisa ebinyonyo okumala omweezi 1 nemere ekoleddwa era oluvanyuma, liisa 25% emere ne 75% omuddo. Weziriira wayina okubeerawo ebanga erimala. Emere erimu ekiriisa ekizimba omubiri kiretera ebinyonyi okukula obulungi era zirya obungi bwa 30-40g ey‘ekirisa ky‘obusonko omuli calcium n‘okugumya amagulu gaazo. Kwata ebinyonyi amagulu obusale emimwa, bigeme era okuume okutambula kwenkkoko n‘obuyonjo.