Abalunzi b‘enkoko bangi balunda enkoko ez‘amagi naye nga balunda nkoko ntonotono. Endabirira ennungi esobola okwongera ku bungi bw‘amagi enkoko ge zibiika.
Enkoko z‘amagi ziyinza okulundirwa mu butimba oba mu biyumba omuteereddwa obukuta naye enkola zombi ziba ziruubirirwamu kwongera ku bungi bw‘amagi enkoko ge zibiika. Ku ffaamu, okwetangira obulwadde kikulu nnyo nga tofudde ku bungi oba obutono bw‘enkoko ezirundibwa era kino kiyamba okuziyiza endwadde.
Enkola z‘okwetangira endwadde
Okuteekawo enkola ez‘okutangira endwadde ku ffaamu, weetaaga okubeera ne we banaabira ebigere ku mulyango oguyingira mu ffaamu, omuntu yenna ayingira ffaamu mw‘annyika ebigere bye okutta obuwuka obubiriko. Bw‘oba okkiriza ebidduka okuyingira mu ffaamu yo, weetaaga okubeera n‘ekifo ku mulyango ebidduka we bifuuyirirwa okutta obuwuka obubiriko.
Eddagala eritta obuwuka okuba nga likola bulungi, kakasa nti entabula y‘eyo entuufu era ziyiza eddagala eryo okugendamu obukyafu. Osobola okutuuka ku kino abantu n‘emmotoka basooka kunnyika bigere byabwe oba emipiira gy‘emmotoka mu mazzi agataliimu kantu nga tebannaba kulinnya mu ddagala eritta obuwuka.
Era osobola okunaaba mu ngalo n‘eddagala eritta obuwuka nga tonnayingira kiyumba kya nkoko, era kendeeza ku muwendo gw‘abantu abakyala ku ffaamu kubanga bano bayinza okuleeta obulwadde.
Enkola endala ez‘endabirira
Kakasa nti obungi bw‘enkoko bw‘ebwo obutuufu obuli wakati w‘enkoko mukaaga ku musanvu mu buli mmita emu. Obugazi buno butwaliramu n‘ebifo omuli ebiriiro n‘ebinywero.
Enkoko ziteeremu obuti obulengejja kubanga ebinyonyi mu butonde byagala nnyo okukola dduyiro.
Enyingiza n‘enfulumya y‘empewo erina okubeera ennungi okufulumya empewo ya carbondioxide ne ammonia n‘okuyingiza empewo y‘omukka omulamya ogwa oxygen.
Teekamu ekitangaala ekimala okumala waakiri essaawa kkumi na mukaaga olunaku kubanga ekitangaala kyongera ku bungi bw‘amagi agabiikibwa.