Enkoko za kuroilers ziriko amagoba mangi ddala olw‘ensonga nti z‘enonyeza emmere, zigumira enkyukakyuka mubudde ate nga n‘amagi gaazo mawangaazi. Ekika ky‘enkoko zino kisibuka mu buyindi.
Ekirala amagi n‘ennyama ebiva mu nkoko zino by‘amugaso nyo eri oblamu nadala eri abaana abato kubanga bino bibayamba okwongera kumagezi gabwe ag‘omukibiina. Kyamugaso nyo okuliikiriza enkoko zino kumere erimu ebiriisa olwo zisobole okula obulungi awamu n‘okwetangira endwadde.
Emigaso munkoko zi Kuroiler
Ekisooka amagi g‘enkoko za kuroiler mawoomu nyo ate era nga galimu ekiriisa ky‘amanyi eri obulamu bw‘ abantu okugeza mumagi gano mulimu ebirungo nga proteins (ekirungo ekiyamba omubiri okula obulungi) vitamins, minerals nga kino kiyamba omuntu okuba namagumba awamu n‘amany ebigumu.
Amagi g‘enkoko za kuroiler galiko akatale kanene olwensonga nti galina enjuba eya kyenvu nabwekityo n‘ekisobozesa omulunzi we nkoko zino okufuna ssente nnyingi nga atunze amagi.
Ennyama y‘enkoko za kuroiler nayo eriko akatale kamanyi olw‘ensoga nti ewooma nyo ate nga erimu n‘ekirungo (protein) ekiyamba omubiri okula obulungi.
Enkoko zino bw‘ezitundibwa ziwa abalunzi ensimbi olwo nekiyamba kunkulakulana y‘ebintu gyezirundibwa. Ekira enkoko za kuroiler zirimu n‘ekiriisa ekiyamba omubiri okula obulungi.
N‘ekisembayo ennyama ye nkoko zino y‘amugaso nyo eri obulamu bwabantu kubanga eyamba okulwanyisa endwadde awamu n‘obuwuka obw‘obulabe obuleeta endwadde mubantu.