»Obulunzi bw‘obumyu mu Kenya«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=rViMQ-_zVLY&t=94s

Ebbanga: 

00:17:43

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Farm Kenya
»Rabbit meat is one of the best source of protein and healthier than other meats. As a result commercial rabbit farming in Kenya is becoming popular day by dayEmmere y‘obumyu erimu ekiriisa ekizimba omubiri okusinga ennyama endala yonna n‘olwekyo okulunda obumyu obw‘okufuna mu sente bwetaniddwa nnyo kenya «

Obumyu tebuza bwenkulumu era bulya bimmera. Bwetaaga ebirungo ebizimba omubiri,ebireeta amannyi,zivitamini n‘ebyo ebigeza omubiri mu bipimo ebiragiddwa okusobola okubusobozesa okula obulungi.

Abalimi balina okuliisa obumyu emmere yabwo ey‘empeke,omuddo ogukaziddwa,ebikoola ebikaziddwa ne carrots.Osobola okulisa obumyu mu ngeri bbiri;ng‘obuwa emmere engule nga eyo ekoleddwa mu kolero,omuddo ogukaziddwa n‘amazzi agamala.Omuddo ogukaziddwa gwanguya ku nkubwa y‘emmere mu lubutto .

Okozesa emmere nga cabbaage,carrot n‘amalagala.Woba owa obumyu emmere eyebikoola bireke biwotoke bisobole okuvaamu amazzi. olwegulo wanika omuddo ogukaziddwa ogumala,amazzi n‘ebirala ebiyongerwamu.

Emitendera gy‘okuliisa mu obumyu.

Akamyu ak‘emyezi essattu n‘okwambuka kalya grams 150 ,akamyu akalina olubutto kalya grams 180 ate akayonsa kalya grams bisattu ku binna buli lunaku. Akamyu olina okawa amazzi kikayambe ku nkuba y‘emmere mu lubutto.Omulunzi alina okuma obuyumba bw‘obumyu nga buyonjo.

Obumyu bulambule buli kasera.Akamyu akalamu kaba keyagala,kaba n‘obwoya obuwewevu era obubi bwako buba bwetolovu nga bugumu.Bulijjo webuuze nga ku mu mannyi woba olina kewekengede okuba akalwadde.

Endiisa embi

Emmere y‘ebikoola embisi eviirako obumyu okuba n‘omukka mu lubutto.Obumyu tebuza bwenkulumu ekibuleetera okufuna ekidukano era akamyu kayinza okuffa.Abalimi tebalina kuwa bumyu mmere nnyingi naye babuwe ebirungo bibuyamba okukula obulungi.

During weaning do not feed the rabbits lots of concentrate, proteins and vegetables with a lot of water as it causes bloating.Akaseera k‘okuwa obumyu obutto emmere wekatuuka ,tobuwa mmere ezimba mubiri,n‘emmere ey‘ebikola erimu amazzi kuba bujja kufuna omukka mu lubutto.

Obulwadde obuluma obumyu

Obulwadde obukwata amattu g‘obumyu(Ear canker)buziba amattu era nebubuleetera okusiyibwa,okumyukirira n‘okuzimba.Kozesa eddagala eriyitibwa (medicated liquid parraffin) okusobola okubuwonnya.

Obulwadde obuyitibwa Hepatic coccidiosis bukwata obumyu obutto okuva ku maama wabwo era bunno bubeera mu mawuge.

Obulwadde obukwata ebyenda busobola okubyonona awo osobola okozesa eddagala eriyitibwa coccidiosis okusobola okubbujjanjaba.

Obulwadde bwa pneumonia buva ku kiyumba ky‘obumyu okuba nga tekiyisa awamu n‘okufulumya empewo obulungi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:17Endiisa y‘obumyu eyenjjawulo.
01:1802:14Emmere egulibwa
02:1502:45Obulungi obuli mu kuliisa obumyu omuddo ogukaziddwa.
02:4603:20Emmere y‘obumyu
03:2103:51Emmere ekirizibwa okuwebwa obumyu
03:5204:30Obuzibu obuli mu kuwa obumyu emmere y‘ebikoola embisi.
04:3105:40.Obuzibu bwosanga singa obumyu obbuliisa bubi
05:4106:45Obubonero n‘obubi bw‘obulwadde bbwamattu obukwatta obumyu (ear canker)
06:4608:15Obuzibu obuli mu kuwa obumyu emmere ennyingi.
08:1609:02Ebipimo by‘emmere by‘olina okuwa obumyu ku mitendera egy‘enjjawulo.
09:0310:12Endiisa y‘obumyu obutto obutuuse okulya n‘omugaso gw‘obuyonjjo.
10:1311:03Omugaso gw‘okuwa obumyu amazzi n‘obubonero bw‘akamyu akalamu
11:0312:30Ebiviirako obulwadde bwa coccidiosis mu bumyu n‘ebika bya bwo
12:3113:15Obubonero bw‘obulwadde bwa coccidiosis mu bumyu n‘enzijjanjaba yabwo
13:1614:46Engeri y‘okwewala mu obulwadde bwa pneumoniaa mu bumyu n‘ekibuviirako
14:4715:39Enzijjanjaba y‘obulwadde bw‘amattu mu bumyu(ear canker)
16:3917:09Okukuuma ebiyumba by‘obumyu nga biyonjjo.
17:1017:43Emigaso egiri mu kulya ennyama y‘obumyu.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *