Ennyany zilumbibwa mangu enddwade nnyingi era ekirwadde kya anthracnose kyekimu ku zo. obulwadde bwa Anthracnose buleetebwa akawuka ka fungus era busobola okujjanjabwa nga tw‘eyambisa obutonde oba eddagala.
Obubonero n‘okutangira
Obulwadde bwa Anthracnose bulabikira ku nnyaanya nga ebikoola by‘enyizeemu katono.
Okuziyiza tujjako ebikoola ku matabi agawaansi ku kimera. kino kiziyiza ekimera okukoona ku ttaka elibisi ekiritera ennyanya obutalwaala.
Komya okufukirira ekisuse awo okyusekyuuse mu birime. W‘ewale okusimba ennyanya, kaamulali, wamu ne bbiringanya nga obiddingana. osobola okubikyusakyuusa n‘enva endiirwa eziriibwa emirandira okugeza carrots wamu ne beet root.
Okutangira
Mubutonde, osobola okutangira ekirwadde kya anthracnose nga okozesa butto ava mukirime kya neem, evvu wamu n‘amazzi g‘ekigagi.
Mukukozesa eddagala, busobola okutangirwa nga nga okozesa eddagala ly‘ekirungo kya copper oba sulphur nga ekika ky‘eddagala ekisinga mu kufuuyira era okozese eddagala lwa chloro ethynyl naye okukozea eddagala kyekiyira okusembayo mubirowozebwaako.