»Obulwadde bw‘ekigave mu muwogo(CBSD)«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=O__LVsNZmRw

Ebbanga: 

00:19:51

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2012

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AIRC National Documentarie
»«

Obulimi bwa muwogo businga kwosebwa nnyo endwadde bbiri omuli: ekigenge(CMD) n‘ekigave(CBSD) wabula ekigenge kikosa nnyo ekimera era kireeta okufulizibwa ennyo.

Ekigave kisaasaanyizibwa ebiwuka nga obuwojjolo obweru. Obwambe obukozesebwa mu kusala enduli endwadde nabwo busaasaanya ekirwadde singa buba bukozeseddwa okusala enduli ennamu ate sn‘enduli y‘ekimera ekirina obulwadde bweyekuuta ku nduli y‘ekimera ekitalina bulwadde naddala mu biseera nga waliwo embuyaga.

Obubonero bw‘obulwadde bw‘ekigave mu muwogo.

Obubonero bw‘ekigave bulabikira ku bikoola,enduli, n‘emirandira.

Okumyukirira naddala ku bikoola ebikuze, ebikuubo ebya kitaka ebiba ku nduli ate mu mbeera embi ekimera kifa n‘ekikala okuva waggulu okukka wansi. Obubonero obusinga okuba obwamaanyi bwebwo obulabikira mu mirandira. Endabika y‘emirandira eba yefunyiza ate ekitundu ekiriibwakifuuka kya kitaka ne kivunda ate n‘okukaluba.

Ekirwadde kino kisaasaanyizibwa singa oba weyambisiza ebintu ebikozesebwa nga birina obulwadde buno mpozzi n‘okuzaazaamu ebika eby‘enjawulo singa emiti giba nga gyali mirwadde ku ntandikwa.

Endabirira y‘ekirwadde ky‘ekigave mu muwogo.

Ng‘otandika endabirira kakasa nti osimba emiti gya muwogo egitalina bulwadde,era weewale okugabana ebintu ebikozesebwa mu nnimiro emu ku ndala. Simba emiti gya muwogo egisobola okuggumira embeera ate emiti emirwadde gikule oba ogisaanyewo kuba ye givaako obuzibu obwa inoculum obuleetera ekirwadde kino okusaasaana mu nnimiro yonna.

Nga okunganya ebintu ebikozesebwa mu nnimiro fuba okulaba nga okulambula ennimiro kukolebwa bulungi nnyo omuntu omukugu mu kkowe eryo.s

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0003:10Obulwadde bw‘ekigave mu muwogo buleeta okufirizibwa okwamaanyi mu makungula.
03:1105:11Obulwadde bw‘ekigave mu muwogo busaasaanyizibwa ebiwuka nga obuwojjolo obweru.
05:1205:34Obwambe obweyambisibwa mu kusala enduli za muwogo nabwo busaasaanya ekirwadde ate n‘enduli y‘ekimera ekirwadde bwekyekuuta ku kimera ekitalina bulwadde.
05:3509:18Ekirwadde ky‘ekigave mu muwogo kirina obubonero buno; okumyukirirsa naddala ku bikoola ebikulu, ebikoola ebyakitaka ku nduli n‘okufa kw‘ekimera.
09:1910:36Obubonero obusinga okuba obwamaanyi ennyo bwebo obulabikira ku mirandira. Ekikula ky‘omulandira kifunyizibwa ate ekintu ky‘omunda kifuuka kya kitaka, kivunda ate n‘ekikaluba.
10:3711:47Ekirwadde kisaasaanyizibwa ebintu ebikozesebwa mu kusimba nga birwadde n‘ebikoolo ebirina obulwadde okuwera.
11:4813:27Okulabirira ekirwadde kino olina okusimba emiti gya muwogo egitalina bulwadde, weewale okugabana ebikozesebwa mu nnimiro era osaanyewo emiti gyonna emirwadde ate osimbe emiti egiggumira embeera.
13:2815:29Nga okunganya ebintu ebikozesebwa mu kusimba muwogo, lambula ennimiro n‘omukugu okukasa nti temuli bulwadde bwa kigave.
15:3018:44Ekirwadde ky‘ekigave kirina obubonero obw‘enjawulo obwawukana ku bw‘ekirwadde ky‘ekigenge.
18:4519:51Mu bufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *