Ekigero ky’amakungula g’ennyaanya mu kenya kya tani 15 ku buli yiika obutafaanana busobozi bwa tani 30-35 era kino kiva ku nsonga ez’enjawulo omuli ebitonde ebyonoona ebirime n’obulwadde.
Obutamanya nkola za kulima ntuufu n’ebika ebikkirizibwa bwe buzibu obusinga. Ng’ennyaanya tezinnaba kusimbulizibwa, ettaka lirambulwa era omuddo ogwonoona ebirime guggibwamu n’okwetooloola ekifo ekiriraanyeewo. Kasooli n’obulo bisimbibwa okwetooloola ennimiro y’ennyaanya okukuuma ennyaanya nga bikola nga engabo okuva eri ebiwuka. Ebisoomooza mu kulima ennyaanya mulimu ebbeeyi y’ebiteekebwamu okuba waggulu, obutaba na katale, ebiwuka ebibeera mu ttaka wamu ne bakayungiriza abataataaganya ebbeeyi ku katale.
Okutangira ebitonde ebyonoona ebirime
Enkola esinga mu kutangira ebitonde ebyonoona ebirime n’obulwadde kwe kukozesa eddagala ly’ebirime. Kino ebiseera ebisinga kivaamu okwonoona obutonde olwo ne kireeta obulabe ku bulamu bw’abantu olw’ebisigalira by’eddagala ly’ebirime mu nnyaanya olw’obutamanya ku ludda lw’abalimi.
Ebika by’ennyaanya ebirongooseemu ebitakosebwa biwuka na bulwadde bitongozeddwa era abalimi abalimira awatono abasinga tebakozesa bika bino olw’obutabimanyaako.
Enkola ezisinga obulungi
Kikubirizibwa okukozesa ensigo empya ezikakasiddwa mu buli sizono y’okusimba. Ensigo okuva mu kirime ekikadde zitera okuvaamu amakungula amatono era ne kireeta okufiirizibwa eri abalimi.
Amakungula amangi gasobola okufunibwa bwe wateekebwawo ekkolero ly’ennyaanya. Kino kiyamba abalimi okukwasaganya okufiirizibwa oluvannyuma lw’okukungula kubanga ennyaanya ezisigalira nga teziguliddwa zigulibwa amakolero.