»Okubikka ennimiro yo ey’enva endiirwa«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=H1JaHXSssIE

Ebbanga: 

19:16:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

The Ripe Tomato Farms
»Okubikka kukolera ddala enjawulo yennyini! Mu bulimiro bwaffe obw'awaka, nga bwe kiri mu butonde, ettaka eritaliiko kantu era eryereere teririna kalungi konna. Tambula nga oyita mu kibira oba ettale lyonna eryemeza, tojja kulaba ttaka liri awo nga tekuli wadde akaddo. Obutonde bweteereddewo emiruko egy'ekiseera n'enkola ez'okuggyawo ettaka ejjereere okusobola okulikuuma wamu n'okukuuma entabagana y'ekimerra n'ettaka nga nnungi era ey'omuggundu. Kyekimu ne mu nnimiro zaffe. Ettaka lyo ky'eky'obugagga kyo ekisingayo eky'okulimirako enva endiirwa n'ebibala ebisingayo obulungi. Ggwe n'ettaka mulina okukola ennyo nga mukubisizzaamu emirundi esatu singa ettaka erisooka kungulu libeera kkalu nnyo. Libeera lijja kwefugibwa ebirime ebiteetaagibwa mu nnimiro, era omukka oguyamba ebirime wamu n'ebyo byonna ebigimusa ettaka byeyongerayo wansi.

»Okubikka ennimiro yo ey’enva endiirwa«

Okuggyako enkola ey’okufukirira amazzi, okubikka nayo nkola ey’okukuuma obungi bw’obuweweevu obulungi eri ebimera mu ttaka. 
Ebibikka lwe lusengeke lw’ebintu ebiteekeddwawo ng’ekikuuma ettaka erisooka kungulu nga bino biyinza okubeera nga akaveera, ekikoleddwa mu bigoogwa, ensekeseke n’obukuta bw’embaawo. Ekikozesebwa kisinziira ku ki ekirina okumalirizibwa, wabula, okubikka kwongera ku bulamu bw’ettaka, kinyigiriza era kiziyiza ebimera ebyonoona ebirime mu nnimiro.

Enkola z’okubikka

Nga nnakavundira bw’akozesebwa ng’ekikunta okubikka ettaka erisooka kungulu, tabula omuddo omubissi n’ebikoola by’emiti ebikalu oteeke ku mmerezo y’ensigo, so nga mu kukozesa obukuta bw’embaawo, kikuumira wamu ekirungo kya nitrogen okumala akabanga. Kozesa ensekeseke ezitukula obulungi okubikka emmerezo, oluvannyuma ezifuuka ekigimusa eky’obutonde okukuuma ettaka nga ggweweevu nga lirina obungi bw’oluzzizzi obumala.
Mu ngeri yeemu, ku bibikka nga bwe bimera, bibikka ettaka nga bwe bivaamu ebimera ebirala, era biggibwa ku bimera ebikula nga bibikka ettaka. Mu kukozesaenkola y’okutema olyoke obikke, ebirime bikungulwa, bitemwatemwa era ne bizzibwayo mu nnimiro ng’ebibikka. 
N’ekisembayo, tuuma ebibikka okwetooloola ekirime nga ebibikka biweza obugulumivu bwa yinci bbiri era ofukiririrewo.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:27Ebibikka lusengeke lwa bintu ebiteekebwawo okukuuma ettaka erisooka kungulu.
00:2801:45Eekibikka kiyinza okubeera ekiveera, ekikoleddwa mu bigoogwa, ensekeseke n'obukuta bw'embaawo.
01:4602:07Ekinaakozesebwa kisinziira ku kiki ekirina okumalirizibwa.
02:0806:43Okubikka kuggirawo ddala okukuluggusibwa kw'ettaka erisooka kungulu, kyongera ku bbanga ettaka lye likuumirako oluzzizzi oba obuweweevu.
06:4409:51Ekibikka ekya nnakavundira kikozesebwa nga ekikunta eri ettaka erisooka kungulu.
09:5211:36Tabula omuddo omubissi n'ebikoola ebikalu eby'emiti obiteeke mu mmerezo y'ensigo.
11:3712:09Okukozesa obukuta bw'embaawo, kikuumira wamu ekirungo kya nitrogen okumala akaseera.
12:1013:22Kozesa ensekeseke ezitukula okubikka emmerezo, oluvannyuma ebifuuka ebigimusa eby'obutonde.
13:2314:29Ebibikka ate nga bimera, byongera ku ttaka era ne bizaala ebimera ebirala.
14:3015:21Ku nkola y'okutema oluvannyuma obikke, ebimera bikungulwa, bitemebwa ne bizzibwayo mu nnimiro ng'ebibikka.
15:2215:56Tuuma ebibikka okwetooloola ekirime ku bugulumivu bwa yinci bbiri era ofukiririrewo.
15:5719:16Ekifunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi