Abalunzi bangi balunda enkoko kufuna magi mu bungi oba mu butono naye basanga ekizibu ky‘okuserebwa nga kiva ku beeyi y‘emmere eri waggulu kyoka nga amagi agave ebweeru we gwanga galasi nnyo.
Okukendeeza ku buzibu bwokuserebwa mu katale, okwongera omutindo ku magi keyekimu abalunzi kyebayinza okukola. Okwongera omutindo nga ogabugumya kyongera ku buwangaazi bw‘amagi okutukira ddala ku myezi 15. Okutandika omulimu gw‘okubugumya amagi, wetaaga okusoka okuwandika emitendera egigobererwa eri ab‘ekitongole ekikebera omutindo (National Bureau of Standards) okukakasa. Okututandika omulimu guno, wetaaga entandikwa okukugula ebyuma newankubade ebimu ku bikolebwa bisobola okukolebwa n‘engalo naye ekyuma ekibugumya kyo kyetagiisa era nga kifanagana nekyo ekikozesebwa ku mata.
Emigaso gy‘amagi amabugumyeko
Mu kubugumya amagi, waliwo emitindo egirina okugobererwa nga okikola okakasa nti ekivaamu tekirina tabu mu mazzi era tekiganya akawuka ka salmonella okuva mu magi okudda mu bantu. Okubugumya, osobola okukozesa amagi ag‘enkoko ez‘amagi oba enganda(enasi). Agava mu nzungu gabeera ssi gabeeyi nnyo ate agenganda kavaamu akasente akawera lwakuba omulimu gwetaaga okuba nga gafunika buli kaseera awatali kusirisa mu bungi.
Amagi amabugumye gakubirizibwa okuweebwa abaana abato, abakadde n‘abantu abalina emibiri eminafu ku ndwadde basobole okukendeeza ku busobozi bwokufuna akawuka ka salmonella.
Amagi amabugumyeko era gasigala magi kikumi ku kinakyo 100% era gasobola okukozesebwa okukola ice, okukola ebirungo ebyenjawulo, okukola nga gali agakabikibwa, okutonatonakeeki era nemukola ebyokunywa ebizimba omubiri.