Okufiirizibwa oluvannyuma lw’okukungula : Okutereka ebijanjaalo mu bidomola

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=BvM5VTp9ZyI

Ebbanga: 

04:52:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SAWBO™ Scientific Animation Witout Borders
Olw'okuba abalimi bafiirwa amakungula gaabwe ku mutendera gw'okutereka, okufiirizibwa oluvannyuma lw'okukungula ebijanjaalo kusobola okukendeezebwa nga bakozesa tekinologiya omwangu. Nga ebiwuka bwe birumba ne biteeka ebituli mu bijanjaalo, okutereka ebijanjaalo mu bidomola ebitayitamu mpewo kitta ebiwuka ebisinga era kozesa ebidomola bya liita nga 5 ne 20 mu bunene. Kozesa ekidomola ekitabeerangamu bintu bya bulabe era bwoba obisumulula, ebirimu byonna birye obimalemu mu wiiki ntono.

Okutereka ebijanjaalo

Ekisooka, nga tonnabitereka, bikaze bulungi mu kasana ku ttundubaali, bironde era obiyiwe munda mu kidomola ekiyonjo, kinyeenye era okibikkeko akaveera akagonvu osseeko akasaanikira k’ekidomola okanyweze olambeko ennaku z’omwezi z’okisibiddeko n’ekigendererwa. Ng’omaze okussaako akasaanikira, kireke okumala lwakiri omwezi nga tokibikkudde okutuuka mu budde bw’okusimba okwewala empewo okuyitamu ekireetera amagi okwalulwa.
Ekisembayo, ebijanjaalo eby’okusimba tobitereka okusukka emyezi 6 mu kidomola kubanga omutindo gw’ensigo guyinza okukendeera.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:37ebiwuka birumba ne biteeka ebituli mu bijanjaalo
00:3801:02okutereka ebijanjaalo mu bidomola ebitayitamu mpewo kitta ebiwuka ebisinga.
01:0301:09kozesa ebidomola bya liita nga 5 ne 20 mu bunene
01:1001:48Kozesa ekidomola ekitabeerangamu bintu bya bulabe
01:4901:57 bwoba obisumulula, ebirimu byonna birye obimalemu mu wiiki ntono.
01:5802:17Bikaze bulungi era obironde nga tonnabitereka.
02:1803:06biyiwe munda mu kidomola ekiyonjo, kinyeenye era okibikkeko akaveera akagonvu.
03:0703:20Ssaako akasaanikira k'ekidomola okanyweze olambeko ennaku z'omwezi z'okisibiddeko n'ekigendererwa.
03:2103:42Ng'omaze okussaako akasaanikira, kireke okumala lwakiri omwezi nga tokibikkudde okutuuka mu budde bw'okusimba
03:4303:55ebijanjaalo eby'okusimba tobitereka okusukka emyezi 6 mu kidomola
03:5604:52Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *