Omuceere ogukaziddwa obubi mwangu gw’akuwumba, wamu n’okulumbibwa ebitonde eby’onoona ebirime awo kw’ekufiirizibwa. Naye okukaza omuceere ogukyaali mu bisusunku kizibuwala naddala mubiseera by’enkuba n’ekiddedde ekiretawo obw’etaavu okukozesa ekyuuma ekikaza.
Okukozesa ekyuuma kya BAU-STR mukukaza omuceere kikendeeza kumiwendo, abakozi, wamu n’akatyaabaga kuby’obulamu. Ekyuuma kya BAU-STR kiriko ekitundu ekipika, epipa y’omunda, epipa y’awabweeru, olupiira omuyita empewo eyokya wamu nesigiri. Epipa y’omunda neyawabweeru zituula wansi wonna, ekipika kibeera ku pipa y’omunda, esigiri eteekebwa kumabbali gepipa y’omuceere so nga ate olupiira olw’ekyuuma lugatibwa ku sigiri n’ekipika kulw’empewo ey’amaanyi.
Amasanyalaze g’ekyuuma ekikaza
Ensigo zisaanye okuteekebwa kyenkanyi wakati wepipa y’omunda era akaveera kabikibwa waggulu okuziyiza empewo wyokya okufuluma. Amanda agakoleddwa mubisusunku by’omuceere nga gatemeddwatemeddwa ku muwanvu bwa 2.5cm gakozesebwanga omuliro musigiri oba nga amasanyalaze oba ekyo ekiwa amasanyalaze eri ekipika. Ekipika kinywa empewo eyokya okuva mu sigiri okuyita mu lupiira olw’ekyuuma era nekifuuwa empewo eyo eyokya mu pipa y’omunda. Kino kikaza omuceere.
Ebugumu eripikibwa mu muceere teriyina kussukka 43 degrees eri ensigo era ne 50 degrees omuceere okuliibwa. Okusobola okujjayo omuceere obulungi, tabula okumala esaawa 4 ku 5 oluvanyuma lw’okukaza.