Okugata omutindo n’okupakinga semutundu: engeri y’okukaza n’okutunda semutundu wabweru w’egwanga

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=pa1RmMs70Pk

Ebbanga: 

10:39:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Catfish Farm Enterprise
Sente zeyongera ezifunibwa nga oyongede omutindo ku byenyanja era n'obitunda mu butale obw'ebweru okusinga nga okuunze wano mu butale obw'awaka naye okugatako omutindo n'okupakinga byetagiisa
 Okukalirira  n’okwanika mitendera mu lujjegere lw’okwongera omutindo ku semutundu omuntu byasoboal okugezesa. Abatandika obutandisi, kiyinza obutabakakatako okubeera n’ebidiba byebyenyanja oba okulunda semutundu zogenda okukalirira n’okukaza. Osobola okugula obuguzi okuva eri abazirunda gwe noyongerako omutindo. 

Ebikola ebyetagisa

Ojja kwetaaga ebyenyanja byewerundide oba byoguze wamu n’ekyoto (oven) ekisobola okubeera eky’amanda, amasanyalaze oba omukka (gas). Era wetaaga olubaawo kwotemera, akambe wamu n’omunnyo okutangira okwononeka. 
Mu kupakinga, wetaaga byonopakinga mu nga obirabye wamu n’ebbaluwa ekukiriza okukola (licence) okuva eri ekitongole ekikwasanya okutunda mu butale bw’ebweru. 

Okwongera omutindo ku byenyanja

Nga omaze okufuna ebyenyanja, bipime, obiteeke mu kalobo ogatemu omunnyo olwo obikeko okwewala ebyenyanja okuvunda.
Kozesa amazzi okwoza ebyenyanja  ogyeko ebyenkira n’ebiviri.
Ebyenyanja binyike mu mazzi amatabule mu ommunyo, nga wano oteeka ebyenyanja mu kalobo olwo noyiwamu amazzi agatabudwamu omunnyo.  Amazzi g’omunnyo gayamba okubikuuma nga btebiwunya, gongeramu ku buwomi bw’ekyenyanja. era okukalubya n’okugumya eddiba ly’ekyenyanja. 
Ebyenyanja bitegeke ku kyoto obikalirire okumala enaku 1ku 2okusinsira ku bugume lyobikalirirako. Kendeeza omuliro gw’ekyoto  olabe nga ebyenynaj tebikakanyala oba okusirira.
Bwomala, ebyenyanja bigye ku kyoto, obilongoose, obipakire bitundibwe ebweru. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:09Nga omuntu atandika okwongera omutindo ku semutundu, oyinza obutetaaga kulunda byenyanja naye n'obigula okuva eri abalunzi babyo.
02:1003:30Ebikola ebyetagisa mu kuteeka omutindo ku semutundu.
03:3104:14Omutendera ogusooka kwekupima ebyenyanja ebyakatuuka era n'obyebasa nga okozesa omunnyo.
04:1504:49Ebyenyanja binyike mu munnyo.
04:5005:20Ebyenyanja obisengeke mu kyoto era obikalirire okumala enaku lumu oba biri okusinzira ku bugumu.
05:2106:00Bwomala okukalirira, bigyemu ku kyoto, obilongoose era obipakire okutundibwa.
06:0110:39Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *