»Okugimusa nga okozesa ebimera«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=ZxxurjxzqTI&list=RDCMUC9U2fgUx3ybR8roC7RBR3YQ&index=6

Ebbanga: 

00:08:42

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Mobile Tutor
»«

Okubeera nga yemu ku sector ezisiinga obunene okwetolola ensi, obulimi n‘obulunzi bukosebwa nnyo okukendeera kw‘obugimu mu ttaka okuyitiride ekivirako amakungula amabi ate nga matono.

Okugimusa n‘ebimera kitegeeza okuteeka ebikoola by‘akiragala, obuwakatirwa, obusaka wamu n‘obuti obwamatabi mu ttaka. Eno enkola ekozesebwa okulongosa enkula y‘ettaka wamu n‘obugimu mu ttaka okusobola okubuwangaaza.

Engeri y‘okukolamu ekigimusa.

Bwetuba tukola ekigimusa eky‘omubimera, ebikoola bya kiragala wamu n‘ebimera by‘ebirungo ebikulu mu kukyusa ensengeka y‘ettaka era omulimu omukulu gwa kwongera kigimusa kyamutaka, okwongeza ku kigimusa kya nitrogen, wamu n‘ebirungo ebirala ebyongeza ebikungulwa.

Okugimusa n‘ebimera kukoleka, kwabuwangaazi era nga kukekereza nga bwoyongera kumakungula g‘ettaka erikaddiye oba erikoze enyo.

Okwongerako, okugimusa nebimera kusinzira kumbeera y‘obudde mu nimiro. Ebika byobugimu obuva mu bimera bwebumu n‘obuva mu bikoola. Munkola eyokuzawo obugimu webuva, osimba ebimera mu nimiro, nobisala nga bigenda kumulisa n‘obiziika mu nimiro omwo mwenyini nga nakavundira avunda okukola obugimu kyoka ate okugimusa okw‘ebimera okwabulijjo, otabura ebikoola, nobuti mu taka. Ebikunganyizidwa birekebwa okumala enaku biri bisooke biwotoke, olwo nokolamu entumu, nobibika nga okozesa endagala bisobole okuvundamuko. Bino bizikibwa mu ttaka, nga bobikyusakyusa okutuusa lwofuna obugimu bwoyagala.

Ebirungi ebiri munkola eno

Okukozesa ebimera kyongera kubugimu bwomu ttaka, enkula n‘endabika y‘ettaka wamu nokwongera ebirungo ebiyamba mu ntambula y‘empewo mu ttaka kwosa nokugumira ebiwuka ebbyonoona ebirime n‘endwadde.

Ebibi ebiri munkola eno

Bwogerageranya ku nkola endala, ezokugimusa ettaka, okukozesa ebimera kitawaala obudde buwanvu era sikirungi kubulimi bwa sizoni

Nekisembayo, kitwala sente eziwerako okuteeka mu nkola bwogerageranya n‘enkola endala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:14Okugimusa n‘ebimera kulimu okuteeka ebikoola, obuwakatirwa, mu ttaka
02:1502:30Ebikoola bya kiragala wamu n‘ebimera bintu bikulu nnyo mu kukyusa obutonde bw‘ettaka
02:3102:44Okugattako, obugimu obuva mu birime bwongera ekirungo kya nitrogen wamu n‘ebirungo ebirala mu ttaka.
02:4503:54Okugimusa nga okozesa ebirime kikoleka, kyabuwangaazi ate kikekereza.
03:5504:00Okugimusa n‘ebimera kusibwa mu knola okusizira ku mbeera y‘obudde oba ebiseera
04:0104:10Ebika byokugimusa n‘ebirime byebino, okugimusa wenyini wolimira wamu nokukozesa obuvundu obuva mu bikoola bya kiragala
04:1105:43Okuzza obugimu muttaka mweyini, ebimera birimwa, nebitemebwa nga bituuse okumulisa nebizikibwa munimiro mwenyini mwobirimidde.
05:4406:55Mu kugimusa n‘ebimera, ettaka litabulwamu ebikoola bya kiragala.
06:5607:10Ebirungi mulimu okwongera ku bugimu bw‘ettaka wamu n‘endabika y‘ettaka.
07:1107:28Ebirala biba, kwongera ku birungo by‘omuttaka, entabula y‘empewo mu ttaka, wamu nokugumira ebiwuka ebyonona ebimera wamu n‘endwadde
07:2907:38Ebirala kuba kuziyiza muddo nokutekawo embeera eretera obuwuka obwomuttaka okukula.
07:3907:56Ebibi byebino, enkola eno etwala obudde buwanvu, ate nga ssi nungi bwoba wesigama ku nkuba nga olima.
07:5708:03Kyotekamu kiba nga okola kino kiba waggulu.
08:0408:42Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *