»Okujjanjaba obulwadde«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=YK3gHvO_ViA&t=140s

Ebbanga: 

00:17:07

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2015

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Parallel Media
»«

Emwanyi nkulu mu nyigiza y‘abalimi naye ekosebwa nnyo endwadde.

Obulwadde obusinga okukwata emwanyi mulimu Coffee Berry Disease (CBD), Coffee Leaf Rust (CLR) ne Bacterial Blight of Coffee (BBC). Obubonero obukulu obulaga CBD mulimu ebipaapi ebya kitaka ebikwata ebimuli, obutondotondo obudugavu ku mwanyi eza kiragala, ekikuta ky‘omuti okufuuka kitaka n‘ebipaapi ebya kitaka nga birimu amabala amaddugavu. Enzijjanja ya CBD mulimu okusalira nga bukyali, enkwata, okukendeeza amatabi, okukyuskyusa mu bikolebwa wamu n‘okufuyira eddagala eryetagiisa, okusiimba ebika ebigumira endwadde nokukyusa obutonde bwezo ezirwaala amangu n‘ezitalwala nga oziyuunga.

Endwadde endala

Obubonero bwa coffee leaf rust mulimu ebipaapi ebifumuuka ebya kyenvu oba kachungwa ebikwata wansi w‘ebikoola. Ekikoola kyona kiyinza okukwatibwa era nekigwa singa obulwadde bweyongera obubivirako okuwotoka. Enzijjanjaba ya CLR yemu ne ya CBD

Bacterial Blight of Coffee bwe bulwadde obulala obw‘amaanyi obukwata emwanyi. Obubonero bwabwo mulimu ebipaapi ebidugavu n.obusuwa okujjulamu amazzi nga birabikira ku bikoola nga enkuba etandise okutonya. Ebikoola ebifudde n‘ebikala tebigwa naye bisigala byekutte ku muti era obulwadde butandikira empeke wezekwatira ku matabi olwo nebukirira wansi. obulwadde bwebweyongera, omuti gwona kusobola okufuuka omuddugavu n‘egubiririra.Ebimuli n‘obumwanyi obwakavaayo bwefunya era nebufuuka budugavu ekivirako okufirwa ekimera kyona. Endabirila entuufu nga osimba endokwa ezitalina bulwadde, okutemako amatabi agalwadde, okusimba emiti egy‘ebisikirize negyo egikwata embuyagaera n‘okufuyira nga okozsesa eddagala eritta obuwuka obuvaako endwadde. Temako obuwakatirwa ku miti gyona mangu nga wakakngulako okukendeeza ku kubeerawo kw‘obulwadde.

Fusarium wilt; Ono aleeta okuwotoka n‘omuti gwona okukalira ddala negufa era alwanyisibwa na kukendeeza bungi bwa asidi (pH ) mu taka, okwewala ebiwuka ebikuba ebituli mu miti wamu nokukuula nga bwoyokya emiti gyona emirwadde.

Okugatta emiti

Kino kiyamba okukyusa ebika ebikwatibwa amangu obulwadde okufuuka ebigumira endwadde nga oyunga ebikolo ebyenjawulo. Amatabi(scions) galondebwa ku maama w‘emiti egyagesezebwa edda ku coffee berry disease ne coffee leaf rust. Nga okozesa emiti emiyunge, tewaberawo nkwatagana ne nima eyabulijjo era kikendeeza ku sente ezandikozesebwa okusigula emiti gyona ate nokuddamu okusimba.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:39Emwanyi nkulu mu nyigiza y‘abalimi naye ekosebwa nnyo endwadde.
00:4000:59Coffee Berry Disease, Coffee Leaf Rust ne Bacterial ze ndwadde ezisinga okukwata emwanyi.
01:0002:07Obubonero obukulu obulaga Coffee Berry Disease.
02:0803:23Enzijjanja ya Coffee Berry Disease.
03:2404:24Obubonero nenzijjanjaba ya coffee leaf rust.
04:2506:36Obubonero nenzijjanjaba ya Bacterial Blight mu mwanyi.
06:3707:13Okutemako obuwakatirwa ku miti gyona mangu nga wakakngulako okukendeeza ku kubeerawo kw‘obulwadde Bacterial Blight.
07:1409:50Ebika, obubonera n‘endabirila y‘obulwadde bwa fusarium wilt.
09:5115:44Engeri y‘okuyunga emiti
15:4516:25Ebirungi ebiri mu kuyunga
16:2617:07Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *