»Okukaza amaliba g‘ensolo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=CkTvfen-s0Y

Ebbanga: 

00:05:10

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2010

Ensibuko / Omuwandiisi: 

rjsmedia
»«

Amaliba g‘ensolo bybimu ku biva ku bisolo ebikozesebwa mu malolero g‘ebyambalo n‘amakolero amalala era nga omutindo gwebyo ebivaamu gusinzira ku nkaza ya ddiba.

Amaliba amagonvu gajibwa ku nsolo nga embuzi, empeewo, endiga, endogoyi, engabi ate amaliba amagumu gajibwa ku nsolo enene. Wabula, mukugongerako omutindo, eddiba linyikibwaera oluvanyuma neritekebwako omunnyo oba okuganyongoza nga okozesa eddagala.

Enkwata y‘amaliba

Nga eddiba limaze okutoba, kolokotako enyama embisi nga okozesa akaso akatasala era oddeyo okugyamu amasavu okusobozesa eddaagala eririgonza okuyitamu amangu. Kozesa sabuni w‘obuwunga n‘eddagala eddala kuba bigyamu olusavusavu.

Okugatako, eddiba olwo litekebwa mu mazzi amatabule okumala enaku entonotono era nga kino kyona kitwala wiiki. Eddiba olinyulule mu mazzi mweryanyikibwa awo odde ku mutendera omulala. Bwomala eddiba lifulumye otekeko ekirungo ekilikuuma.

Mu ngeri yeemu, sigako olububi lwa oyilo aligonza, olireke okumala enaku entotono olwo olikazze. Eddiba liteeke ku lubaawo okukala nokulikomola era bwerikala, kalakatako ebikalapwakalapwa. Oligye ku lubaawo era olikomole nga okozesa makansi.

Nekisembayo ligonze n‘emikono nga olikuuba maso n‘emabega era olikuute nga omutendera ogusembayo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:51Eddiba linyike eraoluvanyuma omansireko omunnyo oba okozese eddagala erinyogoza.
00:5201:18Nga eddiba limaze okutoba, ligyeko enyama embisi nga okozesa akambe akatasala.
01:1901:29Nga omaze. lizeeyo okugyamu olusavusavu mu ddiba okusobozesa eddagala erigonza okunyikira amangu.
01:3001:41Kozesa sabuni w‘obuwunga n‘eddagala eddala kuba bigyamu olusavusavu.
01:4202:11Eddiba olwo litekebwa mu mazzi amatabule okumala enaku entonotono era nga kino kyona kitwala wiiki.
02:1202:30Eddiba olinyulule mu mazzi mweryanyikibwa awo odde ku mutendera omulala.
02:3102:51Bwomala eddiba lifulumye otekeko ekirungo ekilikuuma.
02:5203:05Sigako olububi lwa oyilo aligonza, olireke okumala enaku entotono olwo olikazze
03:0603:21Put skin on board for drying and shaping. Eddiba liteeke ku lubaawo okukala nokulikomola
03:2203:45Bwerikala, kalakatako ebikalapwakalapwa.
03:4604:02Oligye ku lubaawo era olikomole nga okozesa makansi.
04:0304:10Ligonze n‘emikono nga olikuuba maso n‘emabega
04:1104:45Likuute nga omutendera ogusembayo.
04:4605:10Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *