Omutindo n’obungi bw’enva endiirwa gusalibwaawo muntindo gwa nsigo n’ekika kya tekinologiya ekikozesedwa mukulima.
Nga omulimi bwatandika n’ensigo ennungi okufuna endokwa ez’omutindo, ziyina okubeera nga ziva mu kifo eky’esigika, nga temuli bulwadde, okumerera ewamu era n’okuzitereka mukisiikirize era nga wakalu. Okumeza endokwa ky’etagisa okufaayo wamu n’okulabirira eri ebimera ebiramu obulungi wamu n’amakungula amalungi.
Okumeza endokwa
Sooka omeze endokwa mu mikebe era mukifo awatali bulwadde era tozifuutika kubanga omukka n’amazzi by’amugaso era oluvanyuma, teeka emikebe kukyuuma ekigulumivu era tokozesa bitebe byambaawo kubanga emirandira gimera kumbaawo era wewale okukoona ku ttaka kino kiziyiza enddwadde eziva mu ttaka era fukirira emikebe okutandika okumeruka.
Mungeri yeemu, ku wiiki 2-3, gimusa n’ebigimusa era oseewo embeera erimu amazzi agamala kulw’okumera okw’awamu era n’okuvaayo kw’endokwa. Okumeruka kwonna kutwaala ennaku 3-7 era eri ebikozesebwa ebitali bizingize, kakasa nti pulasitiiki muyonjo era nti tebiri mukisiikirize.
Mukw’eyongerayo,tangira ebiwuka nga w’eyambisa eddagala erifuuyira ebiwuka erisaanide era kozesa ettaka okutangira enddwadde eziva mu ttaka era simbuliza endokwa oluvanyuma lwa wiiki 4 nga ziyina ebikoola nga 2-4. Ekisembayo, gumya endokwa nga tonaba kusimbuliza okusigaza obukoola obusooka okutangira okuyingira kw’enddwadde.