Ensigo za nerine ezeyanbisibwa okukola sumbala zifuuseza bbula olwokusanawo kwebibira. Olw‘ebbula lino, soya azannyeewo nnyo mu kukola eby‘okulya ebimanyiddwa nga sumbala.
Okukola eby‘okulya bino okuva mu soya oyina okwekkaanya ennyo emitendera n‘obuyonjo ku buli mutendera. Okukola ebyokulya okuva musoya kya layisi ko ate nga tekimenya naye okusingira ddala muvaamu ensimbi.
Emitendera
Okukola sumbala okuva musoya, osooka kussa nsuwa kumuliro nossamu soya nomusiika okutuusa lwakyusa langi, kino kiyamba okukendeeza kumpunya ya soya.
Bwaba ayidde oba ngakyusizza langi mujje mu nsuwa omusekule ng‘akyayokya nga weeyambisa akuuma era omuwewe olwo bwomala muwoze emirundi 2 ku 3 okujjamu ekintu kyonna ekitengejja oba ekintu ekirala kyonna ekitali soya.
Tokosa soya ayatiseyatise mu nsuwa ogattemu ekitole kya potash mu nsuwa okukendeeza ku kawoowo ka soya nokugonza soya osobole okumuyiisa (fermentation). Tabulamu buli kadde okutangira soya okusiriira, kakasa nti mulimu amazzi agamala mu nsuwa. Oluvannyuma lwa soya okujja obulungi , jjamu soya mu nsuwa omusse mu kasero akanenemu oba akagoye akayonjo. Yoza soya era omuzzeemu mu nsuwa omufumbe buto n‘ekigero kyekimu ey‘amazzi.
Okuyonja soya n‘ojjamu akawoowo
Amangu ddala ng‘esuwa ebugumye jjamu soya amazzi omulundi ogusembayo nga weyambisa akasero nakagoye akayonjo. Kino kiyamba okuyiisa okwanguwa. Mu budde obunnyogovu, ttunga ensawo omuli soya omyumyule okusobla okutangiramu ebbugumu, wabula mubudde obwomusana soya ayina okuyitamu empeewo aleme kuvunda. Kuuma soya osobole okujja (ferment) okumala ebiro bibiri, kyusa soya afuuke omuzigo n‘oluvannyuma kolamu obukulungwa mubigero nebipimo byoyagala.
Teeka obupiira/ obukulungwa buno kumuliro bukale. Ebbugumu liyamba okwanguya ediimu obupiira kebukalira n‘okutangira ensowera okubugwako.
Bwebufuuka obudugavu , bujje kumuliro obwanjale ku nsawo eziri ku musana okwanguyiza ku kutereka. Bwomala sekulamu obuwunga.