Amazzi ga bbula nnyo era omuntu alina okuba n‘enkola eyegasa okusobola okukozesa amazzi obulungi kisobozese ebirime okukula obulungi ku nnimiro.
Okusobola okukozesa amazzi obulungi, omuntu alina okusooka okumanya obungi bwa mazzi agaliwo olwo amanye enkozesa yaago kisobozese ebimera okukula obulungi. Amazzi gye gakoma okuba amangi mu ttaka n‘empewo gyekoma okuba entono mu mirandira. Ebifo awava amazzi eby‘enjawulo omuli amazzi agava mu migga, ag‘enkuba, aganayikondo, mukooka n‘ag‘ebidiba.
Enkola z‘okufukirira.
Bwoba oteekateeka okukozesa amazzi, omuntu alina okumanya enkola gyagenda okukozesa n‘obungi bwa mazzi obuliwo. okufukirira okwa matondo kwe kusinga okukozesebwa newankubadde si kwa layisi.
Okufukirira nga otadde amazzi mu binya kyetaagisa amazzi mangi naye kisobola okukuluggusa ettaka, okulegama kwa mazzi n‘ettaka okugwamu ebiriisa. Okutwalibwa kw‘ebiriisa kuno kwe kugwamu kw‘ebiriisa okuva mu mirandira n‘ekusaasaanira mu bitundu ebirala.
Okulondoola
Okulondoola kuyamba omuntu okumanya obungi bwa mazzi agagenda mu kimera , ekipimo kyago na bbanga ekimera wekigetaaga.Okwekebejja ekimera kiyamba okumanya oba ekimera kyetaaga amazzi.
Omuntu era asobola okwekebejja ekipimo kya mazzi mu mirandira nga ayodde ku ttaka nalinyiga mu ngalo okukola akapiira. Sula ettaka lyewakozemu akapiira wansi ku ttaka bwekasigala nga kakyali wamu, awo ettaka libeeramu amazzi agamala. Singa kamenyeka, kitegeeza nti amazzi tegamala bulungi kimera.
Ebibi ebiri mu kukuba amazzi n‘ekyuma.
Okukuba amazzi n‘ekyuma kwa bbeeyi nnyo naddala nga okozesa masanyalaze n‘amaanyi mu kukozesa ebyuma .
Kinyikiza ebirungo wansi nnyo ddala mu ttaka.
Emigaso gy‘okukozesa obulungi amazzi
Okukozesa obulungi ebifo awava amazzi kiyamba okukuuma ebimera ebbanga eddene. Era kyongera ku makungula n‘ekiwa omulimi amagoba amalungi.