Nga tenaba kuzaala, obubizi obuto buyita mu mitendera egyenjawulo nga embizzi eri lubuto.
Mu banga erisembayo er‘egwako, obuzito bw‘obubizi bweyongera kwosa n‘obwongo obujjukira. Embizzi enkazi ezisinga zizalira ku naku 110 ku 117 wabula obungi bwobwana obuzalibwa n‘obuzito bikosa ebiseera okugeza bwobuba obwana nga sibungi buytera okuzalibwa amangu kyoka nga bubeera bunene ate nga obuzalibwa nga bungi bubeera n‘obubizi nga butono era bulwawo okuzalibwa.
Ebitukawo nga embizzi ezaala
Bweruba olunaku lwokuzaala lutuuse, embizzi erina ebintu byekola okugeza okubulwa emirembe, okufukula ettaka wamu nokusimba , okusiza okumukumu, emisuwa okweramba wamu nokuvaamu amazzi mu bukyala. Bungi ku bubondero buno butukawo nga wabula eddakika oba esaawa ntontono okuzaala. Embizzi eri olubuto etwalibwa mukifo wenazalira nga wabula enaku 10 okutuuka okuzaala.
Mu kuzaala okutalina buzibu, embizzi yetaaga obuyambi butono olwo obwana nebuvaayo buli dakika 10 ku 15. Obubizzi buyinza okufuna obuzibu ku faamu era kikulu nnyo okubaawo okuziyambako.
Okulabirira obubizi obuto
Obubizzi nga bwakatuuka, kikulu nnyo okuzza ebirowoozo byona kubwo amangu nga bwekisoboka kubanmga obubizzi obuto buzalibwa bubisi nga enjala ebuluma. Oluusi obubizzi buyinza obutalya nga bukalambadde, nga tebufuna mata gasooka, okubulinyako oba okubwebakako oba olwobukoowu.
Abo abalabirira obubizi balina okukaza obubizi mangu ddala nga bwakazalibwa era balina okukakasa nti buli kabizi kafuna amata agooka.
Omulunzi y‘empagi enkulu ku kulama nga embizzi ezaala.