»Okukyusa ebisusunku by‘omuceere ng‘okolamu ekigimusa ekya layisi-Ekitundu ekisooka«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=JUMcHjDuez4&list=PLXyMQiXhVt9rofgCodEPE6xUs5CVyG5be&index=11

Ebbanga: 

00:11:35

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Farm Kenya
»Samuel Rigu akyusa obulamu bwa balimi mu kitundu kya Mwea nga ayita mu kukyusa ebisusunku by‘omuceere byakolamu ekigimusa ekya layisi okwongera ku makungula ga bitundu 30 ku buli kikumi.«

Okukosebwa okuva ku nkyukakyuka mu mbeera y‘obudde mu bitundu eby‘enjawulo mu Kenya. Buli kitundu kirina ebizibu ebikitawanya okuva ku bbula ly‘amazzi, ebbula ly‘emmere, n‘okwonoona obutonde.

Okwokya amanda kulina obulabe obwamaanyi eri obutonde, n‘ebibwetwoloodde. Okutema emiti n‘ebibira kwe kusaanyawo ebibira n‘emiti gyonna. Okutema emiti kireeta okufulumya emikka emibi eri obutonde. Ton 15 ez‘ebisusunku by‘omuceere ze zifulumizibwa nga bazokya oba okuzisaanyawo era nga kino kyabulabe eri obutonde. Ebisusunku by‘omuceere bikubisaamu amakungula emirundi ebiri singa oba obikozeseza nga ekigimusa oba nga obigasse mu ttaka okulirongoosa.

Okukola ekigimusa okuva mu bisigalira by‘ebimera ebyokyeddwa.

Ekigimusa ekikoleddwa okuva mu bisigalira by‘ebimera ebyokyeddwa gaba nga amanda okuva mu bisigalira by‘ebimera. Kunganya ebisusunku okuva mu balimi bano era obikunganyize mu kifo erimu ebbugumu eringiko eriweza ekigero kya diguli 300 n‘omukka omulamya(oxygen) ogw‘ekigero. Oluvanyuma lw‘essaawa bbiri ojja kufuna ekisigalira nga kyekute.

Teeka ebikozesebwa ng‘obukuta bw‘embaawo mu kifo we byokyerebwa oluvanyuma obizike kungulu oteekeko obususunku bw‘omuceere. Nga bimaze okuva mu langi eya kyenvu bifuuse biddugavu kiba kitegeeza nti bituuse okukunganyizibwa.

Ssa obususunku bw‘omuceere obwa langi ya kiragala era ogattemu ekirungo oluvanyuma obitabulemu ebisusunku by‘omuceere ebyayokeddwa olumala obipakira.

Omutindo gw‘ebigimusa.

Okukebera omutindo kyetaagisa nnyo naddala mu bigimusa. Kakasa nti olina ekirungo kya carbon ekitono ennyo kya bitundu 95 ku buli kikumi nobungi bw‘amazzi obutasukka bitundu 20 ku buli kikumi.

Temperatures depending on the soil can vary the final pH of the final product. Ebbugumu n‘obunyogovu okusinzira ku kika ky‘ettaka byawukana ku kipimo ky‘olunnyo kyoggyamu

Kakasa nti mu kuppakira obungi bw‘ekirungo kyoteekamu n‘obuzito bw‘ekigimusa ekikoleddwa okuva mu birime ebiyokyeddwa byogenda okutabula byenkanankana mu kigero.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:30Enkyukakyuka y‘obudde.
01:3103:00Engeri y‘okufuulamu ebisusunku by‘omuceere ng‘ekigimusa.
03:0104:40Engeri y‘okufunamu ebisusunku by‘omuceere.
04:4105:20Emiganyulo gy‘okukozesa ebisusunku by‘omuceere ng‘obitabula mu ttaka.
05:2106:04Okugatta ekirungo mu ttaka n‘ekigimusa ngokozesa ebisusunku by‘omuceere.
06:0506:35Ebizibu ebiva mu kwokya amanda.
06:3608:06Okukola ekigimusa ekikoleddwa okuva mu bimera ebyokeddwa.
08:0709:00Omutendera gw‘okukola ekigimusa ekikoleddwa okuva mu bimera ebyokyeddwa.
09:0109:50Okukuuma omutindo
09:5111:15Omutindo gw‘ebigimusa eby‘obutonde.
11:1611:35Mu bufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *