Okukyusa enjuki enkazi ebiika mu muzinga gw’enjuki

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=tlqXDInZUoE

Ebbanga: 

00:06:07

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2015

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AgriFutures Australia
Obuyigirize obulungi obw'abalunzi b'enjuki abaatandika edda n'abaakatandika bujja kukubiriza okuteeka mu nkola enkola z'okulabirira ezisinga obulungi, eky'omugaso mu buwangaazi bw'ebiseera by'omumaaso eby'omulimu guno.

Okukyusa enjuki enkazi ebiika mu muzinga gw’enjuki kikulu mu kwongera ku by’obulamu n’okwongera amakungula mu mizinga.

Kino kikolebwa buli mwaka mu balunzi b’enjuki z’amagoba okufuna emiganyulo okuva mu kwongezebwa kw’okufulumya ekirungo kya pheromone n’obusobozi bw’okubiika amagi mu njuki enkazi ento ezibiika ekyongera ku makungula. Abalunda enjuki olw’ekinyumu bakyusa enjuki enkazi ebiika buli myaka ebiri. Mu kukyusa enjuki enkazi ebiika, enjuki enkazi ebiika enkulu erina okufunibwa n’ettibwa era n’esuulibwa. Enjuki enkazi ezibiika ennamu obulungi era nga zirundiddwa bulungi nga zirina olulyo olulungi wamu n’ebiyumba by’enjuki ebirungi nsonga nkulu nnyo mu kwongera amakungula g’omubisi.
Ebikolebwa mu kukyusa enjuki enkazi ebiika 
Okukyusa enjuki enkazi ebiika kukolebwa bulungi nnyo ng’emizinga tegiriimu tegijjudde nnyo era nga waliwo okukulukuta kw’amazzi agawoomerera n’obuwunga bungi ebikolebwa ebimera. Bw’okyusa enjuki enkazi ebiika ng’enjuki nnyingi, waliwo obusobozi bw’okufiirwa enjuki ebiika eyaakaleetebwa wamu n’enjuki endala.
Bwe zireetebwa, enjuki enkazi eziwakisiddwa zisindikibwa mu bukebe obwakolebwa mu ngeri ez’anjawulo nga mulimu enjuki emperekeze 4 oba 5.
Londa enjuki ezibiika ezivaamu enjuki endala ezibiika, tezikosebwa bulwaddeera nga ngonvu. Akakebe k’enjuki enkazi ebiika empya n’emperekeze kateekebwa wakati w’ebiyumba by’enjuki bibiri mu makkati g’ebintu ebivaamu omubisi eby’embaawo. Kebera oluvannyuma lw’ennaku 10 okukakasa oba enjuki enkazi ebiika empya ekkiriziddwa mu muzinga.
Bwoba okyusa enjuki enkazi ebiika ng’okozesa ebiyumba by’enkazi, kikubirizibwa okuggyamu enjuki enkazi enkadde olunaku lumu e mabega olwo oteekemu ebiyumba by’enjuki enkazi ezibiika olunaku lumu emabega nga tezinnaba kwalula.
Nga bwekiri mu nkola z’okulabirira ezisinga obungi, kikulu okukuuma obuyonjo obw’ekika ekya waggulu n’obukuumi ng’okyusa enjuki enkazi ebiika.
Wiiki mukaaga ku musanvu oluvannyuma lw’okukyusa enjuki enkazi ebiika, enjuki enkazi ezitabiika zonna zijja kukyuka kwe kugamba nti kisoboka okuyingizaawo enjuki ez’olulyo olw’amaanyi mu kiseera kitono.
 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:52Okukyusa enjuki enkazi ebiika kyongera ku makungula n'ebyobulamu by'enjuki.
00:5301:15Enjuki enkazi ebiika empya esobola okulundibwa oba okufunibwa.
01:1602:01Obudde obulungi obw'okukyusizaamu enjuki enkazi ebiika.
02:0203:15Okukyusa enjuki enkazi ezibiika kusobozesa okuyingizaawo enjuki ez'olulyo olw'amaanyi mu kiseera kitono.
03:1603:35Londa enjuki ezibiika ezivaamu enjuki endala ezibiika, tezikosebwa bulwaddeera nga ngonvu.
03:3604:23Bwoba okyusa enjuki enkazi ebiika, ggyamu era otte ebaddemu.
04:2405:40Kebera oluvannyuma lw'ennaku 10 ku 15 okukakasa oba enjuki enkazi ebiika empya ekkiriziddwa mu muzinga.
05:4106:07Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *