Okulunda embuzi kintu ekisigibwamu ssente ekitali kya bulijjo newankubadde kulimu emigaso mingi. Kino kiva ku nzaza n‘endabirira embi ey‘ensolo.
Okulaawa endiga ento kyetaago ku ddundiro okutangira ensolo okuzaala mu zinnaazo bwe ziri ku ddundiro era kikolebwa nga beeyambisa enkola ez‘okulaawa okugeza, okusala n‘oggyamu ensigo ezizaala, okukozesa akakoba akasibwa ku kisawo ky‘ensigo ezizaala n‘enkola etaliimu kuyiwa musaayi wabula nga enafuya ebitundu by‘ennume ebizaaala.
Engeri z‘okulaawamu
Okulaawa kukolebwa misana mu kifo ekiyonjo okwewala okukwatibwa endwadde era weewale okulaawa endiga ento ezitalina nsigo zimaze kukka mu kisawo.
Enkola ey‘okusalamu ensigo ezizaala ekozesebwa mu myezi esatu egisooka bukya ndiga ezaalibwa. Wabula eruma nnyo, tesikiriza era ya bulabe eri omusumba w‘endiga era ereka amabwa ku ndiga ento.
Okwawukana ku nkola ey‘okusala n‘oggyamu ensigo ezizaala, enkola y‘okusiba akakoba ku kisawo ekibeeramu ensigo ezizaala ekozesebwa mu wiiki esooka nga endiga ezaaliddwa. Kino kikaluubiriza obulamu bw‘abalunzi nga bagoba ensolo okuzikwata.
Ekyuma ekyasama akakoba kikozesebwa okusiba akakoba ku kisawo, ne kasalako omusaayi obutakkirira mu kisawo ekibeeramu ensigo ezizaala. Ebitawaanya ennyo ensolo ebikivaamu mulimu okuweekeera, okwevulungula, okusamba, okusambirira ettaka, okwenyeenyanyeenya n‘okukyusakyusa omutwe.
Nga okozesa enkola eno, teeka akakoba akaasamiziddwa ku kalago k‘ekisawo era owe endiga ento essaawa bbiri okutereera nga tonnazita kutaayaaya, era tozitambuliza wamu n‘ezo ezaazizaala okwewala okuzaawula.
Kuuma obukoba obukozesebwa mu kulaawa nga buyonjo era oleme kubukuumira mu kitangaala ekitono buleme kuleegulukuka.
N‘ekisembayo, enkola eteriimu kuyiwa musaayi ekolebwa ku myezi esatu bukya endiga ezaalibwa nga okozesa ekyuma ekiyitibwa bbadizo. Ekyuma kino kikozesebwa okunyiga omugatte gw‘obusimu obukola amazzi agazaala okwonoona obusimu bwonna munda mu kisawo ky‘ensigo ezizaala.
Oluvannyuma lwa wiiki nnya ku mukaaga, laba okulaawa okutaatuukirira era oddemu enkola yeemu okutuuka ku wiiki kkumi na bbiri.