»Okulabirira ebbanyi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=3zit1UNp7iM&t=23s

Ebbanga: 

00:08:27

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Digital Agriculture
»«

Ebbanyi kwe kuzimba kwe bbere ly‘ebisolo nga olitegerera ku nkyukakyuka mu ndabika, ebirungo ne neyisa y‘ebbere n‘amata.

Obulwadde buno buletebwa akawuka ka bacteria nga kayita mu kukamira awakyaffu, wabula kasobola okwewalika nga okuuma obuyonjo okutwaliza awamu mu kukama nolwekyo kikulu nnyo okwekebejja nokulwanyisa endwadde okusobola okukendeeza okufirwa. Kikulu nnyookulongoosa ebbere eddwade nga tonalyekebejja era okozese ekikopo ki strip cup bwoba okebera ebbanyi mungeri y‘ekisawo.

Obubonero

Waliwo obubonero obuwerako obulaga ebbanyi mu nsolo ezikoseddwa okugeza, okuzimba ekibbere, okukyusa enfanana y‘amata, obukutubakutuba, okwekutulakutula, n‘amasira, omusaayi nga byetabudde mu mata, okukaluba kw‘ekibbere. okwesala ku bungi, omusujja, okukendeera ku ntambula y‘ensolo.

Enzijjanjaba

Kama amata gonna mu kibbere ekirwadde gagwemu bwoba okakasiza nti ebbanyi mweriri okusobola okulijjanjaba.

Ekyokubiri, yonja enywanto endwadde nga okozesa eddagala eritta obuwuka okusobola okulijjanjaba nekisembayoeddagala liziwe mungeri y‘akizadde.

Engeri yokulyewala

Bwoba okama, ente endwadde zoba osenbyayo okwewala okusasanya obulwadde ku zikyaali enamu.

Mu ngeri yemu naaba engalo bulungi nga ogenda okukama era nebwoba nga omazze era tokiriza nsolo kugalamira wansi nga wakamala okugikama okwewala okulwaza enywanto.

Nekisembayo kungaanya amatondo agasooka ku buli nywanto ogatereke buli gamu wago okusobola okukebera ebbanyi mu ngeri y‘ekikugu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:42Ebbanyi kwe kuzimba kwe bbere ly‘ebisolo nga olitegerera ku nkyukakyuka y‘ebbere n‘amata.
00:4301:06Kikulu nnyo okulaba era nojjanjaba obulwadde buno.
01:0701:52Yonja ebbere erirwadde nga tonaba kulikolako era okozese e kikopo ki strip cup.
01:5302:30Obubonero;ebbere okuzimba, langi y‘amata okukyuka, amata okubeeramu ebyekute, okutukakutuka, amasira n‘omusaayi.
02:3103:12Kama amata gonna gagwe mu bbere eddwade bwoba okakasiza nti bbanyi.
03:1304:41Enywanto endwadde zisiihge eddagala eritta obuwuka li intramammary antibiotics
04:4205:35Mungeri y‘ekizadde ensolo ziwe eddagala ly‘obuwuka (antibiotics)
05:3606:09Okulilwanyisa; ensolo endwadde zoba osembyayo, onaabe mu ngalo bulungi nga ogenda era nebwoba omazze okukama.
06:1006:50Tokiriza ensolo okwebaka wansi nga wakamala okuzikama, funa amatondo agasooka mu buli nywanto ogatereke nga mawuule.
06:5107:20Obubonero obukulu; enkyukakyuka mu nfaanana y‘amata, ebbere okuzimba, enywanto okukaluba, okuzimba oba obulumi.
07:2107:33Okukendeera ku bungi bw‘amata agakamibwa, omusujja, obutalya bulungi, nokukendeeza ku kutambula.
07:3408:00Ebbanyi liletebwa akawuka ka bacteria akava ku bukyafu.
08:0108:27Ebbanyi lisobola okwewalibwa kasita oyonja obulungi ekifo awakamirwa.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *