Endowooza ez’enjawulo ku ngeri y’okukuumamu kasooli okuva eri obutwa obuva ku bukuku obwa inflatoxins ziyamba abalimi nga tebanakungulu ne mu biseera by’okukungula.
Obutwa obuva ku bukuku obwa inflatoxins bwabulabe nnyo eri abantu n’ebisolo. Singa ensolo zo oziwa emmere erimu obutwa buno, zijja kuwa amata n’ebivamu nga bitono, amagi n’ennyama bisobola okutambuza obutwa buno mu bantu. Bwoba oliridde obutwa buno obuva ku kukula ebbanga, bwonoona ekibumba n’ensigo.
Obukuku obuvaako obutwa obwa aflatoxins.
Obukuku obubeera mu ttaka era n’okufuna eky’okulya okuva ku kimera busobola okumera obutwa obuyitibwa inflatoxins. Empewo esaasaanya emitunsi gy’obukuku, n’egigenda ku wuzi za kasooli. Oluvanyuma, bukula ku kasooli ekivirako obutwa bwa aflatoxins okumera.
Kasooli asinga okukwatibwa nnyo buno obutwa bwa inflatoxins naddala mu budde bw’ebbugumu. Kasooli omuto atawanyizibwa nnyo ekyeya.
Okukuuma kasooli okuva eri obukuku
Kikulu nnyo okutandika okusimba amangu ddala, okuziyiza ebimera byo okufa ekyeya. Bwosimba kasooli wo, simba ebintu ebirala nga enkoolimbo okumulinaana.
Ekigimusa kikulu nnyo okukuuma obunyogovu mu ttaka. Okusala ebisigalira era busobola okusigala mu nnimiro, kisobozese ebikunguddwa okubutayononeka nnyo. Nolwekyo, ebimera bikula biggumu n’ebitalumbibwa bukuku. Ettaka lyo bweritaba ssetevu , sima ebikata okukuuma obunyogovu.
Amangu ddala nga kasooli akuze tandiika okumukungula. Kola kino mu kasana, kubanga obukuku buyinza okujja ku kasooli omubisi. Oluvannyuma lw’okuggyako ebikuta bya kasooli, olina okutereka kasooli mu kutiya, okumuziyiza okugendako ettaka. Ggyamu era oyokye buli kasooli alumbiddwa.