Anthracnose bulwadde obukwata emiyembe nga bugikuba amabala amaddugavu mu miyembe era nga bikulira nnyo mu bifo ebiwewera. Bino bisobola okulabirirwa nga osalira mpozzi n‘okukozesa eddagala erifuyira ebimera.
Obulwadde buno buleeta obulabe mu nnimiro ate era byonoona ebibala nga bikunguddwa ekizibu ennyo ku katale naddala ak‘ebweru.
Obulwadde bwa Anthracnose bukuba amabala amaddugavu ku bikoola agatandika nga matono naye gagejja mu kiseera n‘okukuba ebituli mu bikoola ekikiviramu okukala. Obulwadde buno busaasanyizibwa enkuba ate ne ku bikoola ebibulina, ne busaasaanira mu bitundu by‘ebirime eby‘enjawulo n‘omuti gwonna.
Ebikolebwa mu ndabirira.
Lambula era okebere ennimiro y‘ebibala buli lukedde nga ogenderera enkyukakyuka y‘embeera y‘obudde kubanga obulwadde bwa anthracnose bulabika oluvanyuma lw‘okutonya kw‘enkuba.
Ggyako ebintu ebikoseddwa obulwadde naddala obuyembe obutono obukaze. Buno bukola nga kanaluzaala wo kusaasaana kw‘obulwadde buno.
Sala amatabi agaleeta ekisikirize okusobola okwongera ku kitangaala mu birime. Kino kiyamba okukendeeza ku mbeera y‘obunyogovu naddala mu bimera ekivirako obulwadde buno.
Enkozesa y‘eddagala erifuuyira akawuka
Fuyira n‘eddagala erifuuyira ekirwadde kino kyokka tekimala wabula kigenda n‘omulimi okwenyigiramu nga akozesa eddagala eririmu ekirungo kya copper n‘eddagala erisaasaanirawo oluvanyuma lw‘okufuuyira. Kozesa eddagala eririmu ekirungo kya copper nga wakalaba obubonero bw‘ekirwadde obusooka n‘eddala erisaasaanirawo mu bitundu ebirala ebirwadde wabula tokozesa ddagala litta obuwuka nga ebimera tebinamulisa kuba lijja kubiremesa okumulisa.Weyongere okufuuyira buli luvanyuma lwa wiiki 3 oba 4 nga bw‘okyusakyusa eddagala erifuyira erisookerwako nga bwofuyira ebitundu ebirina obulwadde bw‘ennyini ne mu kifo mwennyini.Komya okufuyira mu wiiki 3 nga onateera okukungula nebwoba okozeseza eddagala erisookerwako okufuuyira ku bitundu ebikoseddwa obulwadde bw‘ennyini nga okozesa eririna ebirungo ebyamaanyi.
Tabula fuddu kkala mu mazzi ofuukirire omuti okuva wansi okudda waggulu era wekenneenye ekipimo kyokozeseza.Gerageranya obungi bw‘emiti bwolina okusobola okutegeera ekirungo ekyetaagisa.