»Okulabirira obuwuka obulya ebiwuka ebirala ebireeta endwadde mu nnimiro y‘ebibala«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/promoting-weaver-ants-your-orchard

Ebbanga: 

00:13:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agro-Insight
»Obuwuka obulya obuwuka obulala obureeta endwadde mu bibala buyamba okukuuma ebibala byo ne binyeebwa mu kutangira ensowera ez‘okubibala n‘ebiwuka ebirala ebitawwnya ebimera. Bwoba tolina buwuka bunno mu nnimiro yo kunganya ebisu byonna okuva mu bibinja eby‘enjawulo obitwale ku gumu ku miti gy‘ebibala. Yambaobuwuka buno okusaasaana ku miti emirala ng‘ogatta emiti egiriraniganye nakawuzi oba akati. Singa obuwuka okuva mu miti egiriranyiganye bulwana, buba buva mu bibinja byanjawuloera bisaana kwawulibwa .Tema buli tabi erigatta emiti gyombi. Mansira evu ku mikono gyo ne b kubigere byo oba ku tabi kwonooyimirira ng‘onoga ebibala.«

Emiti gy‘ebibala gitawanyizibwa ebiwuka ebyonoona ebirime ebitali byangu kulabibwa ekifuula eziyiza yaabyo ekizibu. Naye okulabirira obuwuka oblya ebiwuka ebirala ebireeta endwadde kikuuma/kitangira ebirala n‘ebinyeebwa eri ensowera ezitawanya ebibala era n‘eri ebiwuka ebirala ebireeta endwadde.

Obuwuka obulya ebiwuka ebirala bibeera bimyukirivu ebikuuma emiti nga bibeera munda era nga byekunganya mu bungi okwanganga ababiyingirira.

Obulamu byabyo

Ebiwuka ebito/ebivunyu bifulumya ebiwuzi bya siliki ebikwatira awamu ate ne bigatta eikoola wamu. Era obiwuka obulya ebiwuka ebirala ebitawnya ebibala bikuuma emiti gy‘ebibala emisana n‘ekiro.

Ebika by‘obuwuka obulya ebirala eireeta endwadde mu bibala bisula/bibeera mu bisu nga byeyambisa emiti egiwerako era bikolera mu kibinja nga ttiimu , waliwo ekiwuka kimu kyokka ki Nnankulu /Nnakizaalirizi ekizaala ebirala ebito.

Okureeta obuwuka obulya ebiwuka ebirala ebireeta endwadde mu nnimiro y‘ebibala empya tandikiriza nakukunganya ebisu byonna okuva ku miti emito awo mu kutandikiriza kw‘ekiseera/ kwa sizzoni y‘enkuba naye kakasa nti Nnankulu/ Nnakizaalizi mweri okuzirabirira, wabula bwe kitabab bwekityo obuwuka obulya ebiwuka ebiralaa ebireeta endwadde mu bibala tebigenda kusobola kubeerawo.

Yambako obuwuka obulya ebiwuka ebirala ebireeta endwadde mu bibala okusaasaana ku miti emirala nga weyambisa akawuzi naye togatta bibinja kubanga obuwuka buyinza okulwana ne butta bunaabwo era yamba obuwuka buno 0kusobola okubeerawo nga bugumu mu budde obwekyeya/ mu kiseera ekyekyeya ng‘obuwa emmere.

Okukendeeza okutawanguka kw‘obuwuka obulya ebiwuka ebirala ebireeta endwadde mu bibala

weyambise omuti omuwanvu ng‘onoga/ okungula ebibala, naye wesiige/wemansire evu omubiri gwonna okutangira obuwuka buno okukulinyako n‘okuluma omubiri gwoera mansiramansira ematabi g‘omuti n‘evu okusbola okulonda obulungi ebibala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:43Obuwuka obulya ebiwuka ebirala ebireeta endwadde mu bibala bikuuma emiti gy‘ebibala . Bubeera mu bika bingi mu nsi zombi Africa ne Asia.
01:4403:34Obuwuka obulya ebiwuka ebirala ebireeta endwadde mu bibala biyamba/byamugaso: bikuuma ebibala nokutangira ababiyingirira.
03:3503:58Obulamu bw‘obuwuka obulya ebiwuka ebirala ebireeta endaddwec mu bibala, okubirabirila mu nnimiro y‘ebibala n‘okukendeeza ku butanaganvu bwabyo.
03:5904:47Ebibinja bisula/ bibeera mu bisu ku miti. okugyawo/okusengula ebisu kwetaaga okukolera wamu.
04:4805:09Mu buli kibinja mu beeramu Nnankulu/Nnakizaalizi omu.
05:1006:03Okureeta Nnankulu/Nnakizaalizi; kunganya ebisu byonna ebiri ku miti emito obitwale mu nnimiro y‘ebibala empya.
06:0408:19Yamba obuwuka buno okusaasaana nakagwa. Totwala obuwuka okuva mu bibinja eby‘enjawulo.
08:2009:03Obuwuka buwe emmere n‘amazzi mu biseera ebyekyeya.
09:0409:57okukendeeza obutawanguvu bw‘obuwuka obulya ebirala ebireeta endwadde mu bibala.
09:5810:22Weyambise omuti omuwanvu ng‘okungula /onoga ebibala.
10:2310:37Mansira evu ku matabi bwoba ng‘okungula/onoga ebibala
10:3813:00Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *