Okukuuma ennimiro za cashew ne birime ebiwangaazi, kivaamu amakungula amangi n‘okwongera kwennyingiza kuba emiti gyeyambisibwa mumbeera yabulijjo mubyenfuna n‘obutonde kuba bwegirimwa kuvaako ebibala ebyeyambisibwa ng‘ensaano oba omubisi.
Okulabirira ennimiro ya cashew
Jjamu ebisiko n‘omuddo nga tonnakabala osobole okukabala obulungi. Bwomala okukungula temako amatabi agatakyabala ekirime kifune ekitangaala ekimala. Empewo yeetaagisa okusobozesa okugimuka n‘okumulisa ku lwokweyongera kwamakungula.
Wewale okukabala ennimiro ya cashew ngokka nnyo mu ttaka kuba oyinza okutema emirandira nekikonzibya ekirime. Oluvannyuma simbamu ebinyeebwa, soya mubanga eriragirwa, n‘obungi okusobola okwongeramu ettaka, obugime ne nitrogen. Okwongereza kwekyo wewale ppamba, enkoolimbo ne kawo kuba bino birumbibwa ebiwuka byebimu nga ebyo ebirumba ekirime kya cashew.
Weekakase enkoola y‘omuddo entuufu okwongera kuntambula y‘empewo, okukendeeza okuvuganya ku biriisa namakungula okwongera kumakungula. Leka mu ebitundu ebimu ebyebirime byewatabula mu cashew ng‘okungula oyongere ku bugimu bwettaka.
Nekismbayo kungaanya ebibala amangu ddala nga byakagwa okwewala okufiriizibwa n‘okufuna amakungula amangi.