»Okulima emboga n‘ozifunamu mu Zimbabwe«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=fMo4Xcrogpc

Ebbanga: 

00:04:24

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SeedCo Group
»Okulima ebimera ebiri mu ttuluba lya Brassica nkola efunira ddala eri abalimi bonna abanyiikivu. Laba akatambi wammanga era ayige emitendera gy‘olina okuyitamu ku lw‘obulimi bw‘emboga obufuna«

Okulima emboga kimu ku bbiizinensi ezifuna ennyo. Wano, abalimi bayiga enkola z‘okulabirira ettaka n‘ebirime ez‘okukozsa mu kulima.

Emboga nsibugo ya kiriisa kya vvitamiini C n‘eky‘ebiwuziwuzi ekiyitibwa fibre ekitangira okwesiba kw‘olubuto.

Emitendera gy‘okulima

Emitendera gy‘okulima egy‘enkukunala mulimu, okulonda ekika ekituufu wamu n‘okukozesa enkola ennungi ez‘okulabirira ettaka n‘ebirime.

Mu kulonda ekika, fa ku nnaku ze kitwala okukula anti kye ekisalawo n‘emirundi egy‘okukunguliramu mu mwaka.

Fa ku bunene bw‘emboga, obutunda ennyo ku katale.

Okufaanagana mu birime kulina okufiibwako bisobole okukulira mu kiseera kyekimu.

Abalimi era balina okufa ku buwanvu bw‘ekiseera ennimiro bw‘esobola okuwanirira ekimera, anti ennimiro erina ekiseera ekiwanvuko y‘esinga obulungi.

Ekika ekyo kirina okuba nga kigumira endwadde naddala obulwadde obukuba ebiba ebiddugavu ate ne buvunza emboga.

Ebimu ku bika mulimu, fabiola, cabbage delight, ne cabbage cotton.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:25Emboga nsibuko ya kiriisa kya Vitamin C n‘ebiwuziwuzi ebiyitibwa fibre.
00:2601:45Okulima emboga, londa ekika ekituufu era okozese enkola ennungamu mu kuzirima.
01:4602:30Fa ku kufaanagana n‘obunene bw‘emboga obutunda ku katale.
02:3103:22Era fa ku buwanvu bw‘ekiseera ennimiro bw‘esobola okuwanirira ekimera n‘okugumira endwadde.
03:2304:07Ebika kuliko, cabbage fabiola, delight ne cabbage cotton.
04:0804:24Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *