Emiti ekika kya Teak wood kimanyidwa nga kabaka wembaawo era nga kigwa mu lubu lw‘emiti olwa verbanaceae ekigejja ennyo. Ebimu kubika by‘agyo mwemuli; Malabar teak, West African teak, Konni teak wamu ne Adilabad teak.
Omuti gwa teak bwegulimibwa ku ttaka egimu, buli muti guvaamu obunene bwa cubic fuuti 10-15 mu myaaka 14. Enduli ekula kubuwanvu bwa fuuti 25-30 n‘obugazi bwa yiinkyi 35-45. Embeera y‘obudde ey‘etaagisa okulima emiti gya treak y‘eyo erimu enkuka enyingi, mubugumu eritassuka 39-44°C ate era eritakka wansi wa 3-17°C. Obungi bw‘enkuba bwa 1250- 3750mm buli mwaaka era n‘ekitangaala eky‘amaanyi. Omuti gwa teak gw‘etagisa ettaka nga liwanvu ekimala era nga gimu eriyina ekipimo ky‘olunyo ekili wakati wa PH6.5-7.5 .
Emerezo n‘okusimba emiti gya teak wood
Buli merezo y‘abugazi bwa mit 1.2 bumabanga ga 0.3 M ku 0.6 M okuva kumerezo emu okudda kundala era n‘obugazi bwa 0.6 M ku 1.5 M wakati munyiriri z‘emerezo. Okukabala kukolebwa kubuwanvu bwa 0.3 M era ettaka lirekebwaawo okumala ebanga nga lya mweezi oluvanyuma nelitekebwa mu merezo nga ligatidwaamu omusenyu ne nakavundira.
Byombi okusimba nga omansa wamu n‘okusimba munyiriri bikolebwa mu banga lya 5-10 cm. Simba nga ovaku 2m ku 2m okutuuka ku 2.5m ku 2.5m. Okusimba munyiriri kikekereza ensigo, okuguma wamu n‘okukula.
Enteekateeka ye ttaka
Weyambise obuveera mu kusimba. Sima ebinnya byabugazi bya 45cm ku 45cm. Teekamu ebigimusa bya 100g mukinnya mukiseera ky‘okusimba n‘oluvanyuma bitonotono. Katira ettaka oluvanyuma ly‘okusimba era ofukirire. Okuziyiza ebimera ebit‘etagisa kyetaagisa mu myaaka 1-3 egisooka.
Ebiwuka binyuunyuta era nebikoseza ddala emiti. Obulwadde obuyitibwa pink disease fungus buletera omuti okukakanyala kungulu. Obulwadde bwa powdery mildew buletera omuti okuvaako ebikoola nga gukyaali muto.
Okutira emiti gya teak
Tandika okutira oluvanyuma lwemyaaka 5-10 nga omazze okusimba emiti gya treak. Obungi bwemiti bwa 25% girekebwa okugenda mumaaso nga gikula oluvanyuma lw‘okutira okw‘omulundi ogw‘okubiri. Ebika by‘ebirime ebirimibwa awamu n‘emiti gya treak mulimu paddy, kamulali, kasooli, engano wamu n‘ebika byenva endiirwa. Mubufunze, emiti gya treakgyetaaga ekiriisa kya calcium mubungi okukula n‘olweekyo kigwa mumiti eky‘etaaga ekiriisa kya calcium ennyo.