Enkola eya RAS 1 efananamu eyo eyabulijjo abalimi gyebalimamu lima emiti gy’amasanda naye nga ekiriza omuddo omunansi okumera wakati mu miti.
Muno, emiti egiyiwa amasanda amangi gisimbibwa mukifo kyegyo eminafu okulondebwa.Okukoola okwamanyi kukendeera bwogerageranya ku miti egisimbibwa gyoka. Ebigendererwa by’enkola eya RAS 1 kw’ekukendeeza sente z’okusimba emiti gy’amasanda naye ate nga amasanda geyongera, okulima okukekekreza obutonde okukuuma ebibeera mu bibira.
Okulima amasanda okulongoosemu
Enimiro ekozesebwa ku nkola eya RAS 1 mu kulima amasanda eyinza okuva awali ekibira ekikadde eky’emiti gy’amasanda, ekibira ekyazika oba obusakasaka. Enkola eno ekola bulungi nga okozeseza bantu bawaka era n’esente ezetagiisa ntono.
Okusaawo ekibira, temamu miti miwanvu gyoka egiri wakati w’enyiriri z’emiti gy’amasanda kubanga emiti emiwanvu gikosa enkula y’emiti gy’amasanda. Layini z’emiti gy’amasanda zoka zezikolebwamu omuddo . E nsigo esimbibwa mu nkola eya RAS 1 mulimu; PB 260, BPM 1 ne RRIC 100. Emiti gisobola okugibwako amasanda nga giwezeza emya 5 ku 7.
Endabirira y’amasanda enongoosemu
Nga tonaba kusimba, otekateka enimiro nga ogyamu emiti emikadde era endokwa nokisimba ku mabanga ga 3m ku 6m okukuwa ebikole 550 buli hactare. Nga omazze okusima ebbinya n’okusimba amasanda, osobola okuyisamu nga omuceere gw’okulukalu wakati wa layini mu mwaka ogusooka.
Okukoola bu luberera kyetagisa mu layini z’amasand. Ebigimusa obiteeka mu miti gyenyini paka ku myaka esatu naye omulimi bwaba asobola, asobola okutekamu ebigimusa paka nga amasanda gatandise okukungulwa.
Okulwanyisa endwadde ezikwata enduli wamu nokuvunda kyamugaso nnyo mu miti gy’amasanda.
Enkola eya RAS 1 ekendeeza ku mirimu era osobola okufuyiza eddagala eritta omuddo wakati mu layini z’emiti , okwongeza ku makungula, okukuuma obungi bw’ebitonde wamu nokwewala okukulukuta kwa’amazzi.