Ekibala ky‘omuyembe kirimu ekirisa ekya vitamin A ne C era giribwa ku mitendera gyona egy‘okula okugeza nga gikyali mitto newegiba nga gikuze.
Ekibala ky‘omuyembe ekitanayengera kikolwamu eky‘okulya ekiyitibwa chitney pickles n‘eby‘okunnywa.Ate emiyembe egiba gyengedde gikolwamu obw‘okulya obumpwaakimpwaki,ebisigibwa ku mugaati(jam),eddagala eriyitibwa syrup,awamu n‘ebizigo.
Okulimaa emiyembe
Emiyembe tegimala gaffa ate tegyetaaga sente nnyingi okugirima.Bulijjo emiyembe gisimbwa nga bakozesa ensigo oba ndokwa.Emiyembe gisimbe okuvva mu mwezi gw‘omusaanvu okutuuka mu gw‘omunaana mu biffo ebirimu enkuba ate mu mwezi ogw‘okubiri okutuuka mu gw‘okusattu mu biffo ebyetaaga ennyo okufukirira.
Emiyembe gisimbe mu kabanga ka mitaa 10 ku 10 mu biffo ebikalu n‘akabanga ka mita 12 ku 12 mu biffo ebiwewevu.Tabinkiriza emiyembe ng‘osimba enva endiirwaa,ebirime ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka n‘ebirime nga amappapaali n‘amapeera
Engeri y‘okozesa ebigimusa mu miyembe
.Emiyembe giteekebwa mu ebigimusa emirundi ebiri egyawuddwa,ogusooka nga wakakungula mu mwezi ogw‘omukaaga okutuusa mu gw‘omusaanvu ate ekitundu ekirala eky‘ebigimusa kiteekebwa mu mu mwezi ogw‘ekkumi mu nimiro z‘emiyembe emitto n‘emikulu olwo negifukirirwa enkuba weba tettonya.
Mu mwaka ogusooka,ennimiro giteekemu ekirungo kya nitrogen ku kipimo kya graams 100,ekirungo kya phosphorus pentoxide kya grams 50,ekya potassium oxide kya graams 1oo. Osobolaa okwongera ku bungi bw‘ebirungo ng‘emyaka wegigenda okutuusa mu mwaka ogwekkumi.Mu mwaka ogwa kumi n‘ogumu ennimiro giseemu kilo emu ey‘ekirungo kya nitrogen,grams 500 ez‘ekirungo kya phosphorus pentoxide ne kilo emu ey‘ekirungo kya potassium oxide.Ebigimusa ebikoleddwa obulungi mu butonde bisobola okuteekebwa mu nnimiro buli mwaka.
Okufuukirira
Fukirira emiyembe emitto buli kaseera gisobole okula obulungi.Emitti gy‘emiyembe egikuze gifukirire ku lunnaku olw‘ekkumi n‘olwekkumi nattaano nga gimmeruse okuvva mu nsigo okutuusa wegikula okusobola okufuna amakungula amalungi.Okufukirira tekukirizibwa nga wabulayo emyezi ebiri kw‘essattu emiyembe gimulise kuba wanno oba otumbula ku kula kwa ndokwa so si kumulisa.
Okukungula
Emiyembe egigatiddwa gitaandiika okubaza ebibala mu mwaka ogw‘okutaano n‘okweyongera yo ,ate egisimbibwa okuva mu nsigo giyinza okutwala emyaka munaana.Ekibala ky‘omuyembe kimala wiiki bbiri ku ssattu okwonooneka.
Ebikolebwa ng‘omaze oku kungula emiyembe mulimu okweteekateeka,okugyoza,okugema,okugiteeka mu kintu mwegitambulizibwa,era emiyembe gitambulizibwa. Emiyembe giteekebwa mu bisero ebiri ku bugazi bwa cm40 ku cm30.Ebisero binno biirina okuba n‘awayingiza empewo emmala okusobola okusobozesa ennyingizza y‘empewo emmala.