Okuwotoka y‘enkola y‘okuleka ekirime mu kyangaala okukala nga kimaze okutemwa. Ekirime oluvannyuma kikungaanyizibwa ne kikozesebwa ng‘emmere y‘ebisolo eya silage era kiyamba okufuna emmere y‘ensolo enkalu ennyingiko.
Ekisooka okukolebwa kwe kukungula obungi bw‘oyagala oluvannyuma n‘oleka by‘okungudde mu kasana okumala essaawa entonotono bisobole okuwotoka. Temaatema era otabule ekirime ekiwotoseddwa n‘ebirime ebirala okugeza ebisoolisooli n‘ebisagazi oluvannyuma owe ensolo. Ente esobola okulya kkiro nsanvu ez‘emmere eteri nkalu mu lunaku lumu kyokka ku mmere enkalu, ente esobola kulya kkiro ebiri zokka. Okuwa ente emmere eteri nkalu kizireetera okwesiba olubuto naddala obuyana. Muwogo aliibwa naye asobola okukola ng‘emmere y‘ebisolo anti ebikoola bya muwogo oyo bifumbekeddemu ebirungo bya vvitamiini n‘ebizimba omubiri ebya proteins ebitundu kkumi na mukaaga ku kikumi okutuuka ku bitundu kkumi na munaana ku kikumi.
Okweyambisa muwogo
Nga okola emmere y‘ebisolo eya silage, salawo okutabula ebikoola bya muwogo mu bisagazi oba kasooli okwongera ku bungi bw‘ekirungo ekizimba omubiri ekya protien. Ensigo za muwogo tezikozesebwa noolwekyo londawo okukozesa ekitundu ekimeruse.
Muwogo akola nnyo mu mbuzi ez‘amata anti akola bulungi ng‘emmere ezimba omubiri.
Okwongera okugaziyaako
Calliandra calothyrsus amanyiddwa nga omuti gwa calliandra ogukola akasaka mmere ya bisolo ey‘omugaso esobola okulimibwa. Mmere ya bisolo eterina maggwa, ekola akasaka era eyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka esobola okukola ng‘emmere y‘ebisolo mu bulunzi obw‘okukola amagoba mu kulunda ensolo ez‘amata. Calliandra mwangu wa kulima n‘okulabirira, akula mangu, agumira ettaka ery‘olunnyo era ayamba okwongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka.
Nga owa ebisolo emmere, ziwe kkiro bbiri ku nnya buli nsolo mu lunaku era omuti ogwo bwe gumulisa, ebiriisa bikendeera. Ekirungo ky‘emmere ezimba omubiri kibeera ku bitundu kkumi na bitaano okutuuka ku bitundu abiri mu bitaano ku buli kikumi, noolwekyo gy‘akoma okubeera omuto gy‘akoma okubeera n‘ebiriisa.
Emiganyulo egiri mu Calliandra
Kirungi nnyo ku mbuzi engeri gye zirya nga zitambula noolwekyo zifuna ekirungo ekirungi ekizimba omubiri, zifuna amaanyi, n‘ebirungo ebirala okuva mu kyo. Calliandra ayongera ku bungi bw‘amata agava mu mbuzi okuva ku liita emu okudda ku liita bbiri mu lunaku. Calliandra wa mugaso mu kwongera ku bungi bw‘ebiriisa ebisangibwa mu ttaka, okuzza emiti mu bifo mwe gitabadde ekyandireetedde mukoka okukuluggusa ettaka eryo.
Era mulungi mu kukola enku anti akula mangu, ayaka bulungi era asobola okuvaamu amanda. Ebikoola bisobola okukozesebwa mu kubikka ennimiro wamu n‘ebigimusa ebiva mu bimera engeri gye byongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka.