Kalituunsi asimbibwa nga weeyambisa endokwa era asobola okutandika okukungulwa okuva ku myeezzi 6 okutuuka ku mweezi 12. Emitti gy‘akalituunsi gyatunzi era girina akatale kamanyi. Bwomala okugula emitti gino girina n‘obusobozi okuddamu okula gyokka.
Mukugattako Weetanire okusimba emitti gy‘akalituunsi emirongoosemu mu kifo ekituufu bwoba oyagala okufuna ensimbi eziwerako okuva mubulimi bwe mitti gy‘akalituunsi.Emitti gyakalituunsi emirungi gibeera gy‘ewetako wagulu kukasongezo bwegiba nga gikyaali mito.
Ensimba n‘endabirira
Tandika na kukabala kifo awagenda okusimbibwa emittti osobole okugonza ettaka. Ekirala koola omuddo buli kiseera kisobozese emitti egyisimbiddwa okukula obulungi.
Kakasa nti osimbira mumabanga ga mita 3 ku 3 kisobozese emitti gino okukula obulungi. Ekirala bwoba osiimba wetanire nyo okozesa emitti egirongosedwamu kubanga gino girina obusobozi okukula obulungi awamu n‘okugumira embeera y‘obudde.
Nekirala tta ebiswa munimiro awagenda okusimbibwa emitti gy‘akalituunsi kino kiyamba okugoba enkuyege munimiro. Bwoba omaze okusimba emitti ffukirira okwetoloola omutti ogusimbiddwa nga weeyambisa edagala erigoba enkuyege.
N’ekisembayo oluvanyuma lw’okukungula kalituunsi sambula ekisambu oddemu osimbe emitti gy‘akalituunsi emirala.
Endabirira y‘emerusizo
Ngatonasiimba ndokwa za kalituunsi nyika ekitundu ekigenda okusimbibwa muttaka mukigyimusa ekiyamba emirandira okula obulungi.
Mukugattako emitti gyibikeko ekiveera ekyeeru kino kigisobozesa okufuna akasana akamala okula obulungi.
Mukw’eyongerayo bikka obuveera omusimbiddwa emitti okusobola okugikebera enkula y‘emirandira gyaagyo. Emitti gyibikuleko ekiveera buli kumakya gisobole okufuna kukasana.
Wewale obutafukirira mitti buli kiseera okusobola okwewala endwadde eziyitibwa “fungal“. Ekirala bwoba osimba kozesa ettaka ekalu ate nga lya musenyu.
N’ekisembayo oluvannyuma lwo mweezi 1 emitti gino gyigyeeko ekisikirize oluvannyuma ogifukirireko ekigimusa eky‘amazzi gisobole okukula obulungi.