Okulima kasooli okw’amagoba

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=sDExyOYCRh8&t=80s

Ebbanga: 

00:07:14

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Infodormitory
Endagiriro ejjude ku kulima kasooli okw'amagoba

Awali ebikozesebwa ebyomutindo wamu n’enkola enungi mu kulima abalimi basobola okwanguyirwa okufuna amakungula mu kasooli nga mangi wamu n’omutindo nga guli waggulu. 

Okwongerako, bwoba olwanyisa ebiwuka nga bingi nnyo mu nimiro fuyira nga okozesa 100ml eza cypermenthrine nga ozitabude mu bomba y’amazzi eya liita 16 ate bwebiba nga ssi bingi nnyo, tabula 16ml eza cypermethrine mu bomba eya liita 16 .  Era okakase nti osimba mu layini okusobozesa kasooli okumera obulungi era tolimamu bintu birala okusobola okumulabirira obulungi. 

Enima

Tandika nga olonda ettaka egimu, eridugavu, eriwewuka nga muwogo tasimbibwangawo ko mu biseera ebyakayita. 
Bwomala sambula eniniro  era opime obunene bw’ekitundu wogenda okusimba ensigo okusobola okufuna obungi bw’ensigo obumala era oguleebokozesebwqa ebyomutindo okuva eri abatongozebwa. 
Kakasa nti osimba empeke 2 buli kinya nga amabanga gali 25cm wakati w’ebinnya , 75cm wakati wa layini nga enkuba yakatandika okutonya okusobola okwongera ku makungula. 
Nga wayise enaku 1-3 okuva lwosimbye fuyiramu eddagala ly’omuddo  okugutta era ku naku 15 okuva lwosimye, okulemu kasooli omulwadde okusobozesesa asigadde okwegazanya wamu n’okubala. 
Era ku wiiki 3 okuva lwosimbye tekamu obusanikira bwa soda 2 obwa NPK 5cm okuva ku kikolo nga wetolooza okwonbera ku bugimu mu ttaka. 
Lamulanga enimiro, olwanyise ebiwuka wobirabira era okunganyize ettaka ku kikolo, okoole omuddo nga kasoolo yakaweeka okukuuma amazzi mu ttaka wamu nokugumira embuyaga. 
Okugatako, teeka obusnikira bwa soda bubirinobw’ekigimusa okwetoloola ekikolo nga kasooli aleese oluyanga okusobola okwongeza ku munwe. 
Okwongerako, olina kukungula nga eminwe gikaze ebiseera ebisinga ku wiiki 16-17 okuva lwewasimba. 
Kakasa nti kasooli ku minwe omugema nga tonamuterka okumukuuma ova eri ebiwuka byona era amakungula ogatereke mu kifo ekirimu empewo obulungi, nga omuwanise  era nga ekiyumba okikuuma okusobola okukala amangu wamu nokwewala emese. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:38Ebikolebwa mu by'obulimi ebirungi okusobola okwongera ku makungula ga kasooli.
00:3900:57Londa ettaka egimu, eridugavu, nga liwewuka era nga muwogo teyalimibwako ekiseera ekyakayita.
00:5801:25Sambula enimiro nga toyokyeza nsiko era opime obugazi bw'ekifo awagenda okusigibwa ensigo.
01:2601:56Gula ebikozesebwa eby'omutindo okuva eri abakakasibwa okubitunda.
01:5702:19Simba kilo 25 buli hactare, otekemu 2kilo 200 ebya NPK wamu ne kilo 100 eza Urea.
02:2002:53Simba empeke 2 buli kinya nga waliwo amabanga ga 25cm wakati w'ebinya , 75cm walati wa layini nga enkuba yakatandika okutonya.
02:5403:17Nga wayise enaku 1-3 okuva lwosimbye fuyiramu eddagala ly'omuddo , kakasa nti tosimbamu kintu kirira.
03:1804:10Ku naku 15 nga omaze okusimba kulamu kasooli omulwadde, ku wiiki 3 nga omaze okusimba tekamu obusanikira bwa soda 2 obwa NPK 5cm nga wetolooza ekikolo.
04:1104:40Wekebeje enimiro era olwanyise ebiwuka ebigikwata amangu ddala nga wakabiraba nga osinzira ku bungi bwabyo.
04:4105:10Bwoba ofuyira, yambala engoye ezibika omubiri, ettaka olikunganyize ku kikolo era okoole amangu ddala nga kasooli aweese.
05:1105:53Tekako ousanikira bwekigimusa 2 nga wetlooza ekikolo kasooli bwaba amulisiza era okungule ku wiiki 16 -17 okuva lwosimbye
05:5407:14Gema kasooli nga tonamutereka, sitoowa nga eyisa empewo bulungi, nga wasitufu era nga watangira ebiyinira.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *