Muwogo akozesebwa abalimi mu ngeri ezenjawulo nga emere, okufunamu sente, entandikwwa mu kukola ebika by’emere ebirala.
Ekirime kino kisinga kulimibwa nnyo ku lukalu era nga kyasibuka mu South America, nga oyita mu mitendera emituufu okulima muwogo abalimi bafunamu n’amakungula amagi. Bwoba otematema emiti olina okutema obuwanvu bwa 25-30cm nga okozesa akambe akasala obulungi nga kuliko amaso 5-7 buli mutiera nga tegirina kunubulwa.
Emitendera mu kulima
Sooka ofune ekifo nga kibera mu omuddo omukwaffu n’ebikoola kubanga bikola nakavundira , ettaka lirina okuba nga lidugavu nga likumuka bulungi ku musetwe okwewala okulukuta kw’etakka era nga tewali biwuka n’andwadde kubanga bikosa enkula, bini birina okugobererwa okutekateka enimiro mu budde okusobozesa okusimba amangu nga enkuba yakatandika kwosa muwogo okukwata obulungi.
Okwongerako, longosa ensiko, osigule enkonge , ogyemu amayinja era otemu ebinya nga byeyawude 1m mu bifo omutera okulegama amazzi okusobozesa okutambula obulungi olwo ofune emiti emikulu nga giwerza emyezi 10-12 ogitereke mu kisikirize okumala enaku 2-3 kino kiyamba emito okuzaala obutabi mangu okusinga lwosimba nga wakagitema.
Simbanga emiti emilongoosemu kubanga givaako muwogo awera , gikula mangu nekisemabyo simba mu mabanga ga 1m by 1m mu ngeri esengeta oba bukiika nga emitunsi gitunide waggulu okusobola okufuna muwongo omungi mu hactare.