Muwogo kyangu okula singa abeera alimiddwa kuttaka ebbi. Waliwo enkola nnyingi okwongera ku kubala kwamuwogo ate noyongera ne kubugimu bwettaka.
Muwogo engeri gyayina starch omungi ne Proteins omutono asobola okugumira ekyeya. Bwakungulwa nga tannakula kikendeeza amagoba era ne starch abeera mutono.
Enkula ya muwogo
Oluvannyuma lwokusimba, emirandira gyamuwogo gikula gisobole okusika amazzi n‘ebiriisa. Ebikoola bivaayo bisike omusana. Ku wiiki 2-3 emirandira gigejja era starch asinga kuba mungi mu mirandira oluvannyuma lwe myezi 8-12.
Okwongera ku kubala
Simba muwogo agumira endwadde n‘ekyeya ate ng‘abala nnyo. Kulw‘okwongera kukubala ssa kumuwogo obusa obuluddewo ne nnakavundira mumuwogo.
Okwo gwo‘gatta ebigimusa ebizungu mubipimo ebitonotono okwongera ku bugimu bwettaka, tabika mu muwogo ebimera obigatta nitrogen muttaka kyongere ku bugimu bw‘ettaka bisale nekukumera kw‘omuddo. N‘ekisembayo ffa ku ngeri y‘okusimba ekimera kikule bulungi oyongere n‘ekunnyingiza.