Obungi bw’abantu obweyongera buletede ettaka okulimibwa okukendeera nekiretera okuyiya engeri endala ezokufunamu emere okusobola okufuna ebiriisa . Obutiko bulungi okukola nga emere.
Obutiko nva ndirwa ezirina ekiriisa era nga busobola okukolera ddala ebyomugaso mu ndya y’abantu naddala nga obuzibu obusinga ndya mbi. Ensigo z’obutiko y’ensibuko y’okutumbula n’okulima obutiko era nga busobola okulimibwa ku mitendera ejenjawulo okugezaawaka oba ku mutendera ogwokutunda. Ekika kya Oyster bw’ebutiko obwetaaga tekinologiya omutono era nga bukulira mu nimiro ezikolebwa ebintu ebyenjawulo ebingi okugeza, ebisubi, omuddo gw’engaano, ebikutta by’ebinyebwa, ebikuta bya soya, ebiva mu bikajjo, sunflower wamu n’obukuta n’ebirala.
Okukola enimiro
Tematema ebikukata/ebisubi obinyike mu mazzi amayonjo okumala esaawa 3 ku 4. Tutula amazzi agasigalamu nga omazze ikunyika era ebikanja obikteeke mu bukutiya. Biyinkike mu mazzi agokya ku bbugumu lya diguli 80-90^C okumala esaawa 2. Kamulamu amazzi agasuse mu bikanja olwo oteeke ensingo z’obutiko mu bikanja onga bwoteeka mu buveera.
Obuveera busibeko nga okozesa akaguwa akasanuuka aka inc 1.5 wamu ne pamba atanywa mazzi. Ensigo ziterekebwa okumala enaku 20-25 okusobola okumeeruka. Bwezikwata, obuveera busalibwa okusobola okuyingiza empewo era nebutwalibwa gy’ezikumibwa.
Okukungula obutiko
Ebirimba ebisooka birabikako mu naku 4 ku 6 nga wakakubako obutili ebibala webisiza naye nga ebyo bikulira mu naku 2 ku 3. Ebbanga lyona awamu okuva lwosimba paka ku kungula liba lya naku 25 ku 45 okusinzira ku kika. Osobola okwongera omutindo ku butiko bwo nga obukolamu ebintu ebyenjawulo.
Okwegendereza
Obungi bw’amazzi mu kaveera bukosa amakungula g’obutiko.
Tokuba butuli muntandikwa kubanga kino kivirako okuyingiza obuwuka.
Ebbugumu etuufu lirina okukumibwa era nga teritukira ddala ku butiko naye nga okuuma empeewo nga osiba ekutiya embisi mu bbanga oba okusasanya omusenyu wansi nogukuuma nga mubisi.